Enfa Ya Matyansi Butyampa (Original Version) Ekitontome

ENGERO ENSONGE mu LUGANDA Enfa Ya Matyansi Butyampa (Original Version) Ekitontome ZINUNULA OMUNAKU *By E.N.K .Kawere* KAJUBI JAMES INVITES YOU HERE   NKETTA MU BIZINGA by ENK KAWERE TV A-Z Schematics GUEST BOOK /Ekitabo ky'abagenyi Photo 3



ENFA YA MATYANSI BUTYAMPA

Matyansi yali ava Kkooki
Ne munne Ggolooba Bidandi
Yalina akabwa ke akatono
Akaali kamuvaako emabega.

Yalina Madongo enneneko
Ekulembera mu luguudo
Matyansi okutuuka e Kisoma
Ng'obudde busoose okuziba.

Munne amuvaako emabega
Yalaba Madongo kusooba
Olwayimirira ng'evuuma
Ekubye n'emyansi nsanvu

Yadda kubbali ng'ebwama
Kubanga erabyeyo omuntu
Bwe baba bagenda kusomoka
Ne zireeta omusajja omutemu!

Ggolooba asigadde emabega
Ate ye yagamba Butyampa
"Gy'olaga ndabye ng'ekintu
Kinene  kikutte akazigi!"

Yandiba omusajja omusezi
Olaba Madongo evuuma!
Ggwe tambula mpola ng'osooba
Mu ttale mubaamu abatemu!"

Mukwano gwe yayomba buyombi:
"Saagala kutya kwo Bidandi!
Ne bwe tuba tusanze omutemu
Ggwe guma nze wendi otya ki?"

Kazzi bw'amala ebyo Butyampa
Wuuno zimuleese omusezi!
Akutte effumu lya kikomo
Wamu n'ekiso mu nkanga.

Bw'aba tannatuuka Butyampa
N'alya mu ttama ng'agamba:
"Lino lyaziba ggwe olaga wa?
N'obubwa obulinga obukolya?"

Matyansi yagamba bugambi:
"Oba lyaziba ggwe olaga wa?
Yanguwa oddeyo eri emabega
Nviira ne mpita nze ngenda."

N'oli kwe kubuuza amangu,
"Ggwe ani angoba mu luguudo,
N'oli akuvaako emabega?
Oyagala nkuviire olaga wa?"

N'ono kwe kukitta amangu
Olwo ne basooka okuwaya:
"Bampita Matyansi Butyampa.
Ate ono ye Ggolooba Bidandi."

"Kaakati Matyansi ova wa?"
"Nva eyo mu basajja abavubi
Ku nnyanja ewala eyo e kkooki,
Era nagendayo lwa nsonga:

Lupiiya yali ng'etoniwa
Lubuto okulya ng'ayagala
Ng'edduma likoota omumiro
Nadduka nvube ku buyamba.

Nkomewo nkoze ku katooke;
Obulala mpime nga ntunda.
olutala nsibye lwa kitalo,
Era lummenye nnyo emabega."

yali mu bino ng'abinyumya
Nga munne ggolooba emabega
Omutemu amutidde agenda,
Talina gafa ng'atunula!

Matyansi yabuuza omutemu:
"Ekikutambuza ggwe obwomu
Ng'ate bwazibye dda nnyo,
Kaakati kiki ky'onoonya?

Ye nze bwe mmala nkuyita ani?"
Ssempappe naye n'atakisa:
Nti "Kale kiikino ky'obuuza,
Eryanga bampita Ndibasaanya.

Bonna bammanyi bw'onsanga
Ensimbi n'ebibyo ng'olaama
N'abaana abato nze mbamira!
Ggwe tommanyi? Gira ng'onninda!"

Olwo abase ekiso mu nkanga
Nga muli Matyansi atekena!
Naye olw'okuba ow'ekiwago,
n'ageza amusambe okugulu.

N'embwa n'azigamba okujja
Bw'ayita Madongo enkambwe,
oli n'agitunga effumu lye
Eyo yagwa lumu ng'ekanuka!

Bw'ayita akabwa ke akatono
Oli yakasamba busambi
konna n'akatugga obugulu
Lumbe lwa musajja omutemu!

Kino kyamuleeta buswandi!
Yajja gaawanye ng'atokota
N'atema Matyansi Butyampa
Ng'atema kasadde ensaata!

Yalaba Matyansi abisiba,
N'amala okubuuza ebintu:
"Ssente zo Matyansi ziri wa?
Ggwe yanguya bala nze ngenda.

oyagala nkuyonke essaayi?"
Matyansi kwe kutya ng'alaama:
"Mazima siringi sirina!
Kkiriza nkuwe ku buyamba."

Kattira yayomba buyombi:
"Simanyi Matyansi ozannya?
Nze ndaba ogufudde muzannyo!
Njagala okole bwe ndagira!
Nga nno bwe musanze omuzira,
Leero kalikuggwe ejjoogo!

Weebali? Amuwadde akambe!
N'atema! Amuwuzze akalala!
Matyansi bw'akuba ku nduulu,
Yabulwa amutaasa omutemu!

Baabuwe yakanda kulaama
Nti: Ndeka!Yagaana omulogo!
Nga muli amukutte amutuga,
Bw'atyo n'amusenga obunyama!

Yasalanga akuba mu nkanga!
Ebyenda yaleka mu kisaalu,
Omutwe n'agusussa ekibira.
Yakoza ttima na bukambwe!