Custom Rich-Text Page

ENGERO ENSONGE mu LUGANDA Enfa Ya Matyansi Butyampa (Original Version) Ekitontome ZINUNULA OMUNAKU *By E.N.K .Kawere* KAJUBI JAMES INVITES YOU HERE   NKETTA MU BIZINGA by ENK KAWERE TV A-Z Schematics GUEST BOOK /Ekitabo ky'abagenyi Photo 3



    Akatabo kano kaawandiikibwa omugenzi             Edward Namutete K.Kawere 

 

       Ebyewuunyo byaniriza Zinunula ku nsi                                                                                       

 Obuto bwange

   Nkaluubirirwa okujjukira byonna ebyandiko mu buto bwange ,omanyi nnayanguwa
okwetengerera kuba nnayavula mate ,naye mbu mba ntandika okujja nti akagere mmange n'afa
awo nendekebwa awo mulekwa era enfuuzi mu mikono gya bajjajja bange abakulu abamuzaala.
Taata yye teyankubako na mmunye ye .Kubanga yeebikka olubugo mu maaso mukiro ekyakeesa obudde nga wasigadde ennaku mwenda mmale nzaalibwe.
Yamala kutaagulwataagulwa nsolo ku kizigo n'emutta enjole ye n'egalamizibwa mu kiwummulo kyayo e Ndolombe.Mu kukungubaga okw'emiranga emingi n'ebiwoobe ebinene ate ebingi kubanga yali mwana nzaalwa nkulize eyo mutundu ekyo.Bwe nn'esusunkulamu katono ,ne ŋŋenda ne jjajjange omukazi ku lubimbi ,oluusi nnasibanga empummumpu ku lwayi ne nzitwalira jjajja nge omusajja nga nziyita nte era buli mulundi ng'annebaza
bwennagenda gyali enkya ennyo nga mmusanga ayimbula emituba gye egy'emisaaala oba ebitentegere , naye bwe nnagendangayo
ng'obudde bw'enyodde nnamusanganga mu kkomagiro ng'akomaga.Bulijjo yasanyuka nga okundaba, nnewankubadde ng'emirundi egimu yankaayuukiranga nga nsobezza , naye okusingira ddala bwe nneesiiganga obuleebo oba bwe nnasaaalimbiranga ku mitanda gy'embugo
egiwedde okusaaka ,okutega n'okuttula nga gyanikiddwa,era ng'oluusi n'owe e Mbuya anjogererako.Jjajjange oyo yali musajja eyajjula embazuulu,era nga wazimu yamwambadde nga tatembeka era ng'olwo abanaamusala mmaaso babalwa ku ngalo.Kyokka mubiseera
bya teesuulirangamu jjulume ng'abereega era nga saagasaaga nnyo nga tugasseeko okugerenjula okw'engero . Olumu ku nnaku zensinga okujjukira obulungi ,lwe luulwo lwennasooka okufunirako ensimbi.kino kyajja bwekiti:erinnyo lyannuma nnyo ne limmaza ennaku
enzingu ssatu n'erinjigijja ate nga bwe lintujja era buli lunaku nga jjajja omukazi alinyeenya.Ku lunaku olw'okusatu nnalikuulayo mu kibuno nandagira nditwale mu mukwesese gwe mmese okumpi n'omunnyinnyi nditeeke omwo.Nga wayiseewo olunaku lulamba ne ŋŋenda nningizaamu
mu mukwesese nnagenda okulaba nga we nnassa erinnyo waliwo nsimbi ,awo nga njijjayo ,nga ngitunga ku lwayi ,buli muntu eya kyala ng'awaka ngangijjayo nga ngimulaga era nga mmutegeeza n'gemmese bwe yagimpa .Awaka waffe tewaggwanga mpande,amayuuni,balugu,kyetutumula ,nnandigoya,amatooke,empindi,empinnamuti,ebikongo,emiboga ,ensujju,era n'enva endiirwa ng'essunsa ,nnakati,ejjobyo ,ettimpa ,ddoodo,ejjerengesa ,embooge,
enderema ,ne ziizi.Bwennagenda nneyongera embavu,ne ŋŋendanga n'abalenzi abo kumuliraano,okulunda embuzi nga nno ndi bbuutiti era nga nkunnumba bute.
Eyo kuttale,gyennayigira okumeggana ,okulwanyisa emiggo,okukuba ekimiro,okukuba ggogolo,okukuba embiga,era n'okwebagala ente .Bwe twabeera nga awaka
,twabonga nga enje,twayesanga mu mweso ogw'okuttaka ,twakubanga enkuyo,ebikokyo oba okugera engero era nga tulombojja ensozi. Omu ye yasookanga n'agamba nti ,"kiiso kya mbuzi" omulala nagamba nti,"Kabaka"Eyasooka n'ayogera nti,"Mbuulira ensozi,"oli n'ayogera erinnya ly'olusozi.Alombojja bwe yasirikangamu okulowoowoza ,ng'agudde .Emirundi egimu ,twatunuuliranga abawala nga babaka ,nga bazannya kantuntunu,oba nga basiita.Era bo battanga ne nkulimbye oba vvawo ndye.Nze nnayagalanga nnyo okukuba ssekitulege,mu biseera eby'omuggandaalo.

  Nnetonnya mu nsi

EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange. Nazaalibwa mu nsi y’e Tigati mu ssaza ly’e Kitoma, mu Ggombolola ya Bagayakyezinze, ku kyalo Ndolombe, mu kiseera Ssekabaka Kondooba Ndagu Balunginsiiti mwe yaggyira omukono mu ngabo, mutabani we Zigulensigo Kkonkomebbi Kitawongwa amale amuddire mu bigere, enjuba bwe yali egolooba ng’akasendabazaana keememula era ng’ezzooba lyakamala mbale kasookedde lyewanika mu lubaale. Ekyeya ekyayaka ppereketya, ekyayandaakalaza ensi yonna n’erakasira era ekyakooza abantu bonna akagiri bwe kyali kisendeekerezebwa nga kiri kumpi n’okulabibwa mu nkoona, enjala Tolyamunno, Kiryankondwe, Kisannumbu, Ssaanya, Gulikunfuuzi, Kakutiya, Kiryansanafu, okuggyako eno eya jjo ly’abalamu Gwomuwaddaakatebe, bwe zaali zimaze okubaawo era olutabaalo lwe Zinaddookunywa nga lwakadda. Mu maliiri g’olunaku olwo, kalenge eggulu yalitimba era ne ssuulwe yali yagudde mungi ekiro. Kyokka mu kiseera ky’akalasamayanzi obudde bwali bwetadde bulungi era ng’akasana keemulisa bulala awo ng’engajaba we zitandikira okulangaala bwe ziba nga zirima. Okuva mu ggwango okutuuka mu malya g’ebyemisana, enkuba egulansigo yafukumukamu kubanga omwaka omukazi gwali kumpi okukkirira, era okuva mu kiseera ekyo okutuukira ddala mu makola g’ebyeggulo obudde bwali bwa kitto era ekinnyikaggobe, ng’eggulu lyonna kazigizigi alirippyeeko era nga linyiibanyiiba. Naye nno olunywankoko olwawandaggirira nga ndi kumpi ddala okwetondeka mu nsi, eggulu lwe lwalyozaako ebire. Mu kiseera kyennyini kye nagoberamu mu nsi eno, akasana kaali kaaka bulungi era katangalijja ku bikoola by’ebimera. Mmange ne bajjajjange baasanyuka nnyo nga nzaaliddwa kuba kitange bwe yali afa yalaama nti, “mukazi wange ali olubuto bw’azaalanga ‘nnaatuukirira’ y’ansikiranga; naye bw’azalanga ‘gannemeredde’, omu ku baana ba baganda bange ansikiranga”. Ekintu ekitaasanyusa bajjajja bange taata okusikirwa ataviiridde ddala mu ntumbwe ze.

 

             Zinunula bubeefuka n’embogo

 

NGA tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli mu maaso twalaba ng’alina kyeyeekengera ne tuyimirira. Twagenda okulaba ng’agalamira, tuba tukyasamaaliridde, nga mu maaso gye twali tulaga efulumyeyo embogo eyakula n’egangayira, anti amayembe gonna nga gagisibaganye. Naffe ne tugalamira ne tulambaala ng’abafudde. Twalowoozanga nti waliwo embogo emu, kazzi nga ziri bbiri. Bwe zaalaba nga tezitulaba, ne zijja nga zitunoonya. Bwe zaatuggukako ne zituwunyaawunyako ate ne zidda ku bbali ne zigalamira ne zituteega. Omusajja yalabaakanyego kalamuddwa akasiriikiriro, n’ayimusa ku mutwe alabe oba kiri mulaala. Aba atuula kazzi embogo eri awo obwedda egamwegese, kwe kunaawuuka eri ng’enjuki n’emutunga ejjembe mu mbiriizi n’emusitula n’emusinsimulira mu bbanga, n’emutujja ennume y’ekigwo yavuumiramu omulundi gumu nga lumalamu amazzi naye yafiira mu bulumi obutagambika! Akasiriikiriro kaddawo naye nalaba wayiseewo ebbanga ggwanvu ddala ngampaawo kakuba, ne njagala nsitule ku mutwe ndabe oba embogo zigenze.Namagalaza amatu nga wonna cce, kwe kutuula ne mmagamaga nga siraba mbogo, ne nsituka. Mba nsituka ne mpulira Mikolo ng’aleekaana nti, ‘Gwa! ofa!’ Okukyuka nti ng’embogo eri kumpi nnyo okuntuukako ejja bukula. Ne nneewuttula kyabugazi ne njiringita ne nneevuunika ereme kunsogga nga ndaba, olwo nno ng’embuuse. Bwe yadda n’esenseza ejjembe wansi w’olubuto lwange. Eba ensitula, ne njiringita ne ndivaako ne nkola bwentyo emirundi esatu naye ku gwokuna ne ndaalira ku kikolo ky’akati. Yambinula n’emberula n’enkasuka mu bbanga, n’etega amayembe ng’erindirira nzire ngeetonnyeko gankole ogwa walugali. Kyagibuukako, yakanda kutega mayembe na kulindirira mbu nzira, nga bwereere nze nfuuse musu gw’e Kanyanya ‘Mugenzitazze’. Tekuba kutya na nsisi, nandikubye n’enkwawa, anti embogo bwe yankasuka waggulu nagwa ku matabi g’obuti agaali gaboyeddwa ebibowabowa n’ebbombo ne ngalamira okwo bugazi nga siyinza kwenyeenya wadde okwekyusa olw’okutya okusumattuka okugwa wansi. Enjuba yali eri ku ggulu eryetadde ng’eyaka omusana ogwansiika ne gumbabira ne mbugujja ne nkamala nze nga buli kaseera mponga buwonzi Mikolo aleme kwenyeenya kumumalirako kiruyi. We nali nagiwuliranga ng’efuuwa. Mba ndi ku kibanyi kyange okwo, nga ndaba ssebukuule w’omusota ajja akkira ku ttabi ly’omuti eryali lireebeetera ku busammambiro bw’akati kwe nali ndaalidde. Ssessota bwe yali ali kumpi okutuukira ddala ku makoola ag’oku busanso bw’ettabi, ne yeezinga amakata n’asirika, olwo nno n’asigalira kutongeza nnimi. Nga wayiseewo ekiseera ng’omuntu ky’atambuliramu akatalatala akatono n’akamalako, oba gaali maanyi ga mpewo eyakunta oba akatabi kaatendewererwa obuzito bw’ery’e Kalungu ne simanya, anti nagenda okuwulira ng’essota linneegonnomola ku bigere. E e-e-e ne njula okufa ensisi. Bwe nateebanga okwenyeenya, nti limbojja ne ŋŋuma nagenda okuwulira nga lyezingulula mpola ne lijja nga lintambula, liiryo ku bisambi, ku lubuto, ku kifuba, tugatunuulaganyizza. Olwo nno okugwa n’embogo ne mbyerabira, ne ndowooza gusota ogwo gwokka, kwe kugubaka mu bulago ne nsindika eri ekinene. Nagenda okuwulira nga gwewuttudde wansi. Eyo gye gwalaga mpozzi ye yali embogo eyookubiri, yalaba gugirumba n’eyotta kubanga nawulira akabuguutano ng’edduka. Nze olw’okwenyeenya ennyo nga nsindika ogusota, ate nga n’ebibowabowa byayidde dda, byo kwe kwesenda ne bimpa ekyanya. Wamma ggwe ne ŋŋenda yiriyiri okuwummula nga nekkase ku mugongo gw’embogo nange nno ngyebagazze mabega ekintu kye saayagala. Ekyekango nga bwe kitamanya muzira, embogo bwe yalaba efunye omwebagazi gw’eteeyagalidde, n’etyekula emisinde n’egenda anti ng’ebuuka ebibanda! Nze olwo ne njiringita!

 

             ‘Ab’e Bulyambwa batusalira ogw’okufa’

 

BWE twawona embogo, twasisinkana abasajja basatu ne tugenda nabo era ne batunyumiza bingi ku nsi Bulyambwa. Abantu b’omu nsi eyo gye twayingira akawungeezi baali ba kisa kingi bulala anti buli we twatuukanga nga batuwa emmere ya buwa era nga batulagirira n’emigiini egy’okusulamu. Nga wayise ennaku ttaano bukya tutuuka mu Bulyambwa, twali tutambulatambula okumpi n’omujiini mwe twali tusula, ne tugwa mu tteeka ly’Omwami Ndodooti. E Bulyambwa abaami baayo nga balina obuyinza bungi, buli omu ng’anaatera kuba kyetwala era abalala nga bakyewaggula ddala. Mu bo nga Ndodooti y’akulembera. Twagwa bwe tuti mu tteeka lye. Twali tuyitaayita ne tugguka mu kkubo erigwa emmanju we ate nga yassaawo etteeka nti tewabanga muntu mugenyi yenna ayita mu kkubo eryo, sikulwa nga mujjiramu abakessi. Okulikwatirwamu ng’ottibwa buttibwa. Ffe olwaliggukamu nga tukaada, kazzi nnabamba atujjira. Munnange abambowa twabagwa mu ttaano ng’emikono bagizza gye gitawemera ntungo, olwo n’empi zituyiseeko nga batukulubbya nga batutuusa mu maaso g’omusigire w’omwami kubanga omwami yali amaze ennaku nga taliiwo, akyadde. Tetwalwa nga tumuumuunya mu musango, ye nno nga tuwoza biki ebitalina atusemba! Obujulizi obwasooka bwali bwa mu mankwetu ate obwaddirira bwajjula ebigambo bingi lufulubenje ebyatukonjerwa. Omusigire teyabandaaza ng’agutusalira kutumegga, ekibonerezo kufa. Ne tumanyira ddala ng’obwaffe bugayeggaye, ebigere byaffe bitusudde mu matigga. Baatutwala mu nkomyo tulindirire olunaku lwe tulitirimbulwa. Mu mbuzeekogga omwo twamalamu ennaku nnya ziti naye zaalinga omwaka! Baatusiba bwe bati: baatufukamiza amatiitiiri ne batuweta ensingo ne baziteeka wakati w’emiti ebiri, ogumu nga guli wansi omulala nga guli waggulu era mu miti egyo nga mulimu ebikatokato nga toyinza kugolola nnyo nsingo oba okugissa ne bitakufumita. Amaaso buli kiseera nga gatunudde ku ttaka, ne tusiibanga tutyo era ne tusulanga nga tukikijjana okuggyako akaseera akatono ke baatuteewuluzangako nga tulya. Omulundi gumu baaleeta gonja ayokya ne bagezaako okutumuvuubiika mu matama nze eyali amunvuubiika mu kamwa namuluma engalo n’ayomba nnyo nti, ‘Empayippayi eno okujja okunnuma bw’eti!’ Yeewera okumbonyaabonya ennyo ku lunaku olw’okunzitirako nti agenda kusooka kunsalako ekifi ky’ennyama nga ndaba akiryebulemu obulere ajje abundiise. Nze mu kiseera ekyo nali nneesiniddwa nga sikyafaayo ku ngeri gye bananzitamu anti mpaawo magombe g’azza. Baali baakayisaawo olunaku lumu nga batuyiye olunyata ku bigere olwatusiiyiikira omwo ekimomozo, ne tujula okufiira omwo ekituyu, anti nga toyinza kukuba mulanga abambowa ne batakugguunya bitolima bya miggo nti, ‘Towowogganira mwami.’ Ne beetyotyoggolera ku ffe ne bakamala, newankubadde nga ffe tetwabalinaako ndibu, naye ekkonda lye baalina mu myoyo gyabwe lyabaggweerako ku ffe. Era waaliwo ne kazambi w’ebikolwa ebirala bingi bye baatukola. Ku lunaku olwokuna, omwami Ndodooti bwe yadda n’alagira tuttibwe mangu, mu kkomera bazzeemu endulundu y’abasibe be yajja nabo.

 

       Kaamulali Komunaku gwe yansibirira ye yatutaasa                   okuserengeta e Magombe

 

ABAMBOWA ba Ndodooti abaali batutwala mu ttambiro okututta, bwe twatuuka mu masaŋŋanzira, omu ku bo n’asumulula ensawo yange kazzi n’ettu lya mmula wange mwannyinaze Komunaku gwe yansibirira, lyasumulukuse dda, mmula asaasaanidde mu nsawo yonna. Bwe yali aggyamu ebintu kinnakimu, mmula n’amusensera mu nnyindo anti emyasi ne gitta egy’okumukumu, amaziga jjulujjulu, eminyira nnyirinnyiri, munne bwe yamusemberera alabe ekimwasimuza, naye n’assa okwo. Omumbowa oli eyasooka okusumulula ensawo yali yeesangula amaziga, kaamulali n’amugenda mu maaso. Naye bwe yayimba okubalagalwa n’okusonsomolwa wamma ennamusa n’etuuka ku nnyooge. Baalwa edda ne baŋŋamba mbannyonnyole nga bwe guli, ye munnange Mikolo eyali omwangu okusinga kwe kubaanukula nti, ‘Bassebo nno mufudde bufi anti mujja kubeerera ddala bwe mutyo okutuusa olukuusi lwe lulibaggweerako. Ggwe kale bwe banaaba bamaze okututta, ani alibanogera omukuduulu ogulibasawula?” Omumbowa owookubiri n’aboggola nti, ‘Sirika era mutuvumule mangu mmwe bakalibulogo sikulwa nga tubattira wano!’ N’asemberera Mikolo ng’agaludde effumu lye. Nze kwe kuseka sso nga nsesa luggumuggumu ne mmugamba nti, ‘Olowooza bw’onootuttira wano tojja kufa, kale mututtire wano anti mpaawo magombe g’azza. Munaaba mutuwonyezza n’olugendo okufa nga tukooye. Ko Mikolo nti, ‘Mbadde wuuyo wagolodde na dda effumu, olinda ki atanfumita olwange luggwe! Kyokka jjukira nti okututtira wano oba eri gye mututwala tekijja kubawonya. Naye baali bakyazuzumba n’okwekalamula nze ne nziguka ku magezi agaatuwonya. Kye nakola kwe kwolekera omumbowa owookubiri eyali ayimiridde awo ng’asirise ebbanga eryo lyonna. Bwe namala okutemya ku Mikolo asirike, ne mmugamba nti, ‘Wamma basajja battu tujja kubavumula anti nammwe si mmwe mwatusalidde ogw’okufa wabula mutuukiriza kiragiro kyabaweereddwa. Kale mmwe tunaababonyaabonyeza ki? Leero tunaafuuka kiiso kya mbuzi? Ebigambo ebyo nabyogera mpola ddala nga buli kimu nkisimbako amannyo era nga nkiggumiza kyokka nga mbuusabuusa oba omutego gwe nali mbasembereza tebaagulengere kugwebalama. Bwentyo nga bwe nfuuyirira kannasswi, ne mbasaba banteewuluze ku mikono ndyoke mbaggyire mu nsawo eddagala ery’okubavumula. Ko omumbowa oli nnalukalala nti, ‘Litulagirire naffe tulina engalo eziriggyamu. Oyagala tukusumulule oyongere okuloga? Ko munne: Olina agatambaala ebitambo ebinaakuggya omusaayi mu matu! Ono omusajja gwe tusibye emiguwa ku magulu asobola atya okutuddukako, ne bwe tutamusumulula mikono ayinza okwongera okutuloga, kale eno endwadde egenze okutukwata tumaze kumusumulula mikono? Mpozzi nga ggwe tolumwa nnyo naye nze mpulira ng’amaaso agambuuka mu kiwanga!’ Nga bamaze okwogera bokka na bokka mu kaama ebigambo bye saamanya, oli nnalukalala n’ajja ansumulula emikono n’ankwasa ensawo yange gye yakwasa obusongezo bw’engalo era gye yampeereza ng’atunudde ekimbalimbali. Ng’amaze okugimpa, nabayita basembere we ndi ne basembera. Nabakuba amabega ne nningiza mu nsawo ng’alina kye saagala balabe, ne njoola olubatu lwa mmula nga tebannategeera na kye nkola ne nkyuka omulundi gumu ne ndubametta lwonna mu maaso ne gubula asala. Omu yali ankunuukiriza anteme, n’atema munne, baabo bambalaganye ebigwo bisse, kino ky’ani, ky’ono, ky’ani kya mulala. Bwe nali nkyatangaaliridde mbatunuulira nga bwe beekuyenga, ne nzijukira obulamu ne mmagamaga kye nnaasazisa emiguwa kazzi nga ne Mikolo yagguse dda mu kirowoozo kyange kwe kuŋŋamba nti, ‘Kwata effumu eryo erikuli okumpi osazise eryo.’ Omu ku bambowa kwe kugamba nti, ‘Ssebo tosala’ era n’ayita munne amuyambe kubanga yalowooleza ddala ng’alwana nange era nga nze Mikolo gwe yali awa amagezi mmusazise effumu. Nga bwe twali bawakasanke, saalwa nga nnonda ffumu nga nsala miguwa egyali gitusibye amagulu nga nsala n’egyali gisibye Mikolo nga twekomya mafumu agabadde ag’abambowa nga tuyotta naye amagulu nga galinga biwuulowuulo era n’ebigere nga bitiiriika omusaayi olw’olunyata lwe baabiyiwako naye nga tetuwulira bulumi bwonna wabula okuduma obudumi n’okumala gapaala tutyo. Tuba tudduseeko akabanga, ne tusisinkana ekibira ne tukyamukako katono okuva mu kkubo ne twekweka.

 

             ‘Empologoma etta omukazi n’omwana nga ndaba’

 

EMMAMBYA yali esala ne twambalagana n’olugendo lwaffe omuwala nga y’atuli wakati nga nze nkulembeddemu. Ennaku ssatu ze twamala mu lugendo lwaffe nga tutambula mu ngeri eyo. Twatambulanga kasirise era ebigambo bye twayogerera mu kkubo sirowooza nga byasukka engalo z’oku mukono ogumu okuggyako ebyo bye twayogereranga mu kisulo mwe tusuze. Oba kutya kwe kwatusirisa oba birowoozo, simanyi. Ensi mu kitundu ekyo yali ya mbubbu ng’oyinza okulengera kuno ne gye nava, newankubadde nga wano ne wali waabanga weetondeseewo akakuukuulu k’obusaana. Kyokka mu lugendo lwaffe lwonna tetwajjirwamu kyekango. Ku lunaku olwandibadde olwokuna mu lugendo lwaffe nga we banywera emmindi eyookubiri ku lubimbi ne tutuuka. Baatwaniriza nnyo era mu kunyumya okwaddirira ne batubuulira ng’empologoma bwe zaali zimaze ennaku nga zitaamye nga zitigomya abantu n’okubakaabya akayirigombe. Enjuba yali egolooba ne tulya emmere ey’ekyeggulo eyali ey’embwabwa ate ey’ekiyita mu luggya, obudde okugenda okukunira nga twatuuse dda gye twasulizibwa, otulo tetwalwa nga tutuggyawo. Mu mattansejjere empologoma yatulumba n’esooka okwekiinyira n’okwewuluntira eyo ebweru. Bwe twagiwulira ne tulinnya ku kibanyi era nnannyinimu nga ye mutaka ku kyo. Bwe twamubuuza mu kaama ekinaakolebwa ku mukazi we, yatuddamu nti, ‘Ye tamanyi kulinnya? Alinnye.’ So nno ate bambi omukazi ng’alina n’omwana yaakatambula. Mikolo nange ne tuteesa tumuggyeyo nga nze w’okukka wansi mmusitule mmumuweereze amusike ng’ayima ku kibanyi. Naye mba nzika bwenti nga n’okugulu okumu kuleebeeta mu bbanga, empologoma we yawagulira ennyumba ate ku ludda kwe nali nzikira. Okweyongera okukka mu kaseera ako kwandibadde kusuula kugulu mu kamwa k’empologoma oba kugyebagala bute ate nga ku byombi tewali kye nneewaddeyo kukola. Eky’obuzira kye nalaba nga kisaana okukola mu kiseera ekyo kwe kuzzaayo okugulu kwange waggulu amangu ddala nga bwe nsobola. Mba nkuzzaayo ekinnaginnagi ne kulaalira mu miti, Mikolo n’ansika olusika lumu ne kubuuka mu nvuba eyo naye ng’eddiba erimu lisigadde litambiriddwa emiti okununulayo okugulu. Newankubadde ng’akaseera kaali katono ddala mwe natitibanira n’okuwalula okugulu, naye yo empologoma yabwebweneramu obukoko busatu! Ng’emaze okuwemmenta obukoko bwonna, n’evaabiirawo akabuzi awo ng’obudde bukya era ng’omwezi gwememula. Bw’eba efuluma ng’erowooza nti olusassalala erukunkumudde, ebyembi omwana n’awawamuka mu tulo n’akaaba. Anti akatambye! Ensolo n’ekyuka n’ekomawo n’esika omwana n’emutujja ekigwo endege ze zaagiramu zokka be cca a a n’aggwaamu omuka! Ate n’egwira omukazi naye n’emutuga n’emusitulira mu kamwa kaayo egenda emuwalula nga kkapa bw’ekola emmese ensolima. Bwe yamutuusa mu luggya wakati n’emussa n’emagamaga ng’emutaddeko ekibatu kyayo ekya ddyo n’ekutama n’eruma. Saalaba kanyeenyaako mu ye naye oba nga yali asigaddemu akateetera awo we kaggweeramu. Ng’emaze okutuukiriza omukolo gwayo ogwo, yasitula ennyama yaayo n’ekulubba nayo okutuusa lwe yazimirira n’ebulirayo. Twali twagala okukuba enduulu, nnyinimu n’atukomako mangu nti, temukuba nduulu, empologoma bw’enedda ffenna ejja kututta. Mugireke ekome ku abo banaagimala.’

 

                 Zinunula ne Mikolo batta empologoma

 

EMPOLOGOMA ng’emaze okutta muka nnyinimu, twalinda obudde ne butunula ne tulyoka tukuba enduulu. Abantu nfaafa ne bajja ng’eŋŋoma zituuka ku Jjunju, ng’enduulu etokota ng’eggwaayo. Baba bateesa eby’okugiziga eyiggibwe, ffe ne tutandika okugenda nga tulondoola amatondo g’omusaayi tulabe we yamuliiridde. Mu butamanya oba ŋŋambe nti mu busiru bwaffe, kubanga twalabulwa naye ne twezibiikiriza amatu, twalowooza nti empologoma olumala okulya ng’egenda. Tuba tutambuddeko akabanga, omusajja n’atugamba nti, ‘Baana bange temunonoozanga mpologoma.’ Ffe ne tumuzzaamu ekkaaze nti, ‘Obusajja obukulu nabwo! Ogenze okulaba nga gye tulaga?’ ebigambo bye twejjusa oluvannyuma nga wayise akabanga kati. N’abantu abalala baakanda kutulaamiriza nga batulabula nga ffe tusiisiina busiisiinyi, byonna nga bituyita ku nviiri ne bitugwa enkoto, mu matu nga tufaanana ng’abavuubiiseemu ebikwabaaya n’envumbo. Ebigambo eby’enkomerero bye nawulira nga kye tujje tuyite ku kitembejja ky’omusaayi, mpozzi we yawummuza omutulumbi nga tennaba kweggweera, byavuga nti, ‘Abo baliko ekibawujja nandiki mukazi Muyima y’abatuulidde ku kisaabo! Mubaleke gabawale ggwe anti ‘Kayemba nnantabuulirirwa….’ Tugenda okuwulira ng’obunyonyi butiitiira ne ŋŋamba Mikolo eyali akulembeddemu nti, ‘Owange obunyonyi obwo! Mikolo: Obugamba ki? Zinunula: Tebuba nga bulabye empologoma! Mikolo: Otya nnyo naawe, tebulabako ku ssota era bulaba mpologoma eyo. Nga ggwe ye bwe bukulaba! Zinunula: Twandikomye wano nno munnange. Mikolo nakanda kumugamba ng’alalambala bulalambazi agenda, nze ne nnyimiriramu ne mmuyita adde nga yeekwakkula bwekwakkuzi. Nalwa ddaaki nti, nze gwe banaayita omutiitiizi? Nga mmugoberera. Mba mmutuukako nti nga ndaba ayimirira. Gye nakuba amaaso nga ndaba empologoma egatwegese eti gombi, egavulumula bulala. Ha! Singa ettaka lyali limira muntu, lyandimmize. Bwe yagolokoka wansi n’etenga omukira ng’eringa etusaba tugyamuke oba ng’etubuuza ensonga etusaza mu tulo twayo ate mu mbuga yaayo. N’etenga nnyo omukira n’egiginazza essiisi n’eryoka erya mu ttama ko nze ‘wano wafiira muloge’ nga ntyagira. Yalaba mbeteggera n’egamba nti, togenda nange ne ŋŋenda, tuli bukwata obw’amalusu n’eddookooli ekibowabowa nakyo kigambye nti kannyambe munnange bw’etufuuwa. Kinjodde amagulu gombi, okutemya n’okuzibula nga ndi ku ttaka. Ntitibanyeeko okwetakkuluza nga nfuuyira ndiga mulere. Ensolo bwe yantuukako, yansimba ekibatu kyayo ku luba, n’emagamaga erabe omukambwe nnamige agiwuunako bagende naye oluwunguko. Yali ekyakaga n’erengera Mikolo ng’agirumba n’omuggo omugolole nze kwe kumbuukako n’emulumba. Mikolo teyali mubi n’agiviira mu mulungi n’agigubikka, n’agyasanguza ogwokubiri n’agissaako ogwokusatu, okutemya n’okuzibula nga Mikolo avuyira wansi. Olwo nange wansi nsituseewo ngirumbye, egenda okwezimuukiriza nga ngigubabise, ye nno kukuba ku ki olwazi obwazi! Yagamba nti olimbye guno gunsonsomodde buggwa tonzizeeko gwakubiri, ennumbye! Bwe ŋŋenda okugalula nti omuggo ne nseerera ne ngwa kyabugazi n’enkoona n’enywa. Ndyokanga ne ngwa kuba kye kyamponya anti empologoma bwe yalaba ngaludde omuggo n’ebuuka enkwate mu kifuba. Mu kiseera ekyo kyennyini we ngwira nga nayo eralidde enkwate, yasanga bbanga kwe kuyitawo ne yeerindiggula eri. Mba nnyimuka nga ne Mikolo atuuse n’agikaakamu omugobante. Ensolo teyamuganya kugizzaako gwakubiri nga bali nayo, ne bawerennemba. Baba bazuuzumba ne ngirumba, n’ebuuka ku Mikolo ejje engweko embetente, kazzi yeesimira ntaana. Eba ekyali mu bbanga nneesendako katono nti ne mpita n’agomu buto ne ngiseseggula omuggo gumu mu mbiriizi naye nnyini nga si nze ngikuba. Gye nali teyaddayo wabula yaddayo kyennyumannyuma n’esooka omukira ku ttaka, ekyakomererayo kwe kubutamira. Yayiriitiramu katono n’egoberera bajjajja baayo olwo nange ne ngwa eri nga n’omukono gunsowose. Mikolo yajja bunnambiro n’alwawo ng’anneekebejja ng’alowooza nti entaagudde okutuusa lwe namutegeeza nga ndi bulungi, olwo emmeeme eyali emwewanise n’emudda mu nteeko.

 

             Mpona okwokebwa mu nju n’empologoma

 

MBU eddiba ly’empologoma gye twatta baalitwalira Kabaka n’ennyama y’empologoma tewaasigala kafi, buli eyafulumanga eri nti, ‘Bansalireko ekifi kya ddagala lya baana bange.’ Naye saddayo kubuuza ndwadde ennyama y’empologoma gy’eroga. Ku lunaku olwokuna twalaga nnyinimu ng’enkeera bwe tujja okuwaza ku lugendo lwaffe n’atukkiriza kyokka ng’ekikangabwa kinene nnyo wonna anti nga buli lunaku owulira nti egindi empologoma zaaliddeyo omuntu oba nti gundi yagiwonedde watano. Naye ekiro ekyo akabenje ke siryerabira ne katugwako gye twasuzibwa. Olwamala okulya ne tugenda tukigalangatanya mu ngalo. Tuba twakassa oluba wansi nga n’amatu tegannaggweerawo, empologoma n’ewagula ennyumba n’ebuuka Mikolo eyali ku mugguukiriro n’ekwata omulenzi omuddu eyasulanga mu ddumbiizi wakati. Yakaabamu gumu teyaddamu. Ebyaddirira bisaana kulowoozebwa okusinga okwogerwa! Ng’emaze okumutta, yamukavvula nze ne nneekulula mpola ne nneezinga ng’eggongolo mu bisegguusi e buziizi. Mu kugujuubana kwayo n’okwekuteera, nga bw’egira n’esemberera ddala kumpi ne we nali era nga bw’esesa amagumba ne ndowooza nti bw’eneekyusa emirundi ebiri ng’eri ku nze. Bwe yamala okweggweera, n’egalamira omukkuto gukke. Oba yanteekako mukira oba kugulu oba ggumba lya mufu, saamanya. Kyokka bwe nawulira ekintu ekizitozito ekingwako ate nga tekinsegukako ne ndowooza nti empologoma enkutte. Nawuliranga eyira ng’eyeebase naye nga siyinza kwenyeenya sikulwa ng’empulira. Bwe waayita akaseera okutegeera ne kunzigwamu era ebyaddirira Mikolo ye yabintegeeza oluvannyuma ddala. Mikolo bwe yalaba ng’empologoma omwoyo egumalidde ku kyokulya kyayo, yeekwetula mpola okutuusa lwe yatuuka ku luggi n’aluwenjula mpola n’afuluma n’agenda ategeeza nnyinimu eyali asula mu nju endala. Naye olwokuba yali nkoboli ya musajja n’asitukiramu n’akubaakuba ku baliraanwa ne bajja batalaaga ennyumba yonna, abamu ne bawa ekirowoozo nti, ‘tuzibikire ekituli akayumba bakatikke omuliro empologoma eggyiiremu. Ko Mikolo nti, ‘Nedda tukole kirala naye si kwokya nnyumba, kale bwe munaabaamu akyali omulamu naye tumwokeremu! Beppo tugikange eveemu edduke.’ Ko bo nti, ‘Wa… ggwe oyagala kutussa nsolo.’ Abalala ng’olwo batandise n’okwesulubabba ennyumba. Mikolo yalaba beebulankanya, n’abagamba nti oba bo batya ye ajja kuyingira oba naye emutta emutte. Kino mbu yakirowooleza mu mwoyo ng’alowooza nti oba enzise esaana naye emutte. Ne nnyinimu n’assa okwo nti, ‘Tujja kuyingira ffembi’. Abantu bwe baalaba nga bombi bamaliridde, ensonyi kwe kubakwata ne beekakaba. Baaleeta ebitimba ne bataayiza omulyango gwonna. Wali we yayita ku lusonda bassaawo omusajja, ku lusonda olwo emabega w’ekitimba n’omumuli Mikolo gye yayimirira ate abasajja abalala ne bayimirira ebbali n’ebbali w’ekitimba naye nga bayimiridde nsoobanyesoobanye baleme kufumitiŋŋana. Awo abantu bonna okuggyako abaali mu kitimba, ne bawoggana. Empologoma bwe yawulira nga lulinga olwali ku njovu e Kavumba, n’egolokoka n’eyanamu, abantu ne beesasa. Munnange nno mbu ng’awabadde ekibinja wasigadde babale, ate nno ng’embiro za kitengavvumira anti nga ne mu lusuku nayo batyayo. Yo bwe yalaba agimulisa ng’emulumba buteesagga, naye eba tennamutuuka ne bagiyira amafumu ge wali olabye n’eyimiriramu, n’eboggolamu okugwa wali nga nkalu ya jjo. Bwe baayingira ne balaba nga nkyalimu obulamu era nga bamaze okwekkaanya nga sirina kabi kantuuseeko ne banzigya mu nju eyo ne bantwala mu ndala. Namalira ddala ennaku nga ndi mulwadde, mbu oluusi nalogootananga nti, ‘Empologoma yiino endya’ oba nti, ‘Mpa omuggo, gumpe ngikube.’ Ate oluusi bwe nawawamukanga mu tulo nga nkuba enduulu nti, ‘Yiino yiino entwala…’ Kazzi nga mbadde ngiroota.

 

         Ettutumu ly’okutta empologoma litutuusa embuga

 

MBU eddiba ly’empologoma gye twatta baalitwalira Kabaka n’ennyama y’empologoma tewaasigala kafi, buli eyafulumanga eri nti, ‘Bansalireko ekifi kya ddagala lya baana bange.’ Naye saddayo kubuuza ndwadde ennyama y’empologoma gy’eroga. Mu nnaku ekkumi nga muguddemu n’ez’ensobi kasookedde nzisuuka, omanyi twalwawo nga tulindirira abasuubuzi abaali balaga ewaffe nga bava mu nsi ya Kabaka Senikini Gaadimba eyayitibwanga Bijweteko, abasuubuzi ne batuuka ne tusitula okulaga ewaffe kubanga twatya okuddayo ffekka, kye twava tubeesibako ne tugenda nabo. “Ssekawuka kaali kakulumye…” era ne “Nali nkirabye…” olwo lwe zaatuukirira ddala. Nga bwe bisinga eŋŋoma okulawa, twasanga ab’eka byabagobako dda nga bwe twatta empologoma era ng’olukongoolo basinze kulusimba ku nze ng’eyagitta nzekka. Ate ne Mikolo yabanga anyumya omanyi nga mwogezi mulungi nga ye ebigambo byonna abyesuulira ddala nga ye ataabiriimu. Buli we twayitanga nga batusongamu ennwe oba okutuyisaamu emimwa; oluusi ng’olaba omu atemya ku munne n’ensonyi ne zitukwata. Ab’eka baatukulisa nnyo olugendo ne batuyozaayoza okuwona empologoma n’agalenzi agaatujooganga ne gatandika okututya. Bwe gaabanga gasaagasaaga nga gagereesa nti, “Beera awo ggwe nje nkukube ogwa gundi gwe yakuba entalyamenvu;” ng’enseko zitta! Omwami bwe bimugwa mu kutu n’atuyita tugende alabe obulenzi obwatta empologoma. Olwo nzija okusooka okulaba ku mwami Pyati Sololo. Tetwalwa nga tusituka, n’enfiirabulago nga tugenda mbuga. Omwami twamusanga atudde ku kituuti nga kwaliiriddwa amaliba g’ensolo ezitali zimu nga kuliko amannyo g’envubu n’amayembe g’enkula n’embogo, empiri enkaze n’ebyoya by’ennyonyi eza buli mabala. Yali asumise olubugo lw’ennenge era nga yeebulunguluddwa abantu ku njuyi zonna. Yali musajja gwe bayita ‘mumpi atunda kwa kyeya’ era nga mukuubukuubu. Omutwe gwe gwali gwa kitebe, enviiri za kawemba, emimwa gye gyali gya nsaya, ekifuba kyagaagavu era nga kisibaganye kabambaggulu ate amaaso nga ga luwuka era nga gatunula bijiijidde. Ennyindo ye yali nfunda naye wansi nga ndeeruufu, amannyo ge nga galinga amasongolankuyege, amatu ge nga gaawukana katono ku maleere. Yalina obusukuttu ate ng’ayogera aŋoŋŋottera olw’ekinnyindwa era nga bw’assa omukka, afeekeera bufeekeezi. Amagulu gaali ga butagali, ekiwato kya makudde era ng’atuula afutubbadde olw’entumba gye yalina. Mu bantu abaali bamwetoolodde nneekalirizaako babiri nga ku bo okubonaabona n’oluvannyuma essanyu lyange mwe byava. Omu yali muwala ate omulala kaali kasajja akaakula nga kannakkwale. Omutwe gwako gwali luyijja lwennyini, amaaso nga ga lwenge era nga katunula kamoozoola mamoozoole, ekirevu kyako nga kye kikasinga obunene amagulu n’emikono nga minyolo bunyolo gya ŋŋoma ate nga koogera kabundugguka. Kaali kasajja ndalagge. Abantu abamu, oba nno baakasala busazi bigambo lwa kukatya baatugamba nti kaali kalogo ate akasezi nga katwala balamu. Okumanya baakatya ne bakamala, baatugamba mbu ng’amabidde kayinza okugaloga ne gasaala era n’omwenge ogukyali entwere nga kagukenkuza. Akantu ako nga ke katabani k’Omwami akakulu. Omwami Pyati Sololo yali mutaamuufu eyajjula akazolobo n’embazuulu. Abaana be nga tebawuunibwako wabula mpozzi ng’oyagala kubikusibisiza ku nnyindo na kugendera ku kisago oba ku kibabu. Nga tumaze okunyumyamu ebiti nga bibiri oba bisatu oba ekituufu nandigambye nti nga tumaze okwanukula bye yatubuuza yatusiibula naye yatuggya ku muggalo, kubanga twali ku bwerende nga tutya okubaako kye tusobeza mu maaso ge.

 

               Nneetegekera entalo za Pyati

 

MBA nkyali awo ntangaaliridde, abantu bangi ne bandaga obubonero n’emikono n’emimwa nti genda ate olinda ki? Nange seefuula ‘nswaswa eteyanula’ nga mmyansa ndaga ka. Bwe natuuka mu kkubo ne ndyoka ntegeera nga bwe mponedde awampi awaalema ekkere okubuuka. Nze okulabikako eka, kye kyawanula emitima gya bonna gye gyali gyewanise kubanga bonna baalowooleza ddala nti siireme kutuukibwa kabi omwami nga bwe yali yeesaze atyo akajegere. Ku luno akawungeezi twali tunyumya ne Meeya ne Mikolo mu kayu kaffe Meeya n’ajjukira nti, Meeya: Ee! ee! ee! ye sso mbadde nneerabidde ntya! Mikolo: Weerabidde ki? Meeya: Nneerabidde okutegeeza ono nga Mirembe bwe yamutumidde, sso nno ate maama ng’amutumira bulijjo nze ne nneerabira. Leero ndyose ne nzijukira. Nze kwe kubuuza nti, “Mirembe ki oyo eyantumidde gwe simanyi? Mikolo n’atulika n’aseka ‘nnyindo yankolera’ nga bw’agamba nti, “Ggwe tomanyi muwala w’embuga olulala gwe wabuuza Meeya erinnya?’ Nze kwe kubuuza Meeya nti, “Naye ddala omuntu gwe situmirangako ye antumira atya?’ Ekyo teyakiddamu wabula ate okumbuuza obubuuza ekirala nti, ‘mbuulira ggwe, mmuddamu ntya?’ Yalaba simunyeze ng’agamba nti, ‘nze nja kumugamba nti wamutumidde nnyo.’ Nali ŋŋenda okumuwakanya nga Mikolo asuulawo mboozi ndala nga baseka nga biri babizibiikiriza, ekyandowoozesa ne leero nti be baasooka okwetumiriza eri Mirembe nga baagala twagalane, kubanga omuwala oyo ne Meeya nga gubasaza mu kabu ate ng’okusinziira ku njogera ya Meeya bulijjo yalabikanga ng’amunjagaliza.

 

                 NFUUKA MUKWANO GWA MUYODI

 

Ebbanga nga liyiseewo ttono emmeeme yange n’esigala kulengera bulengezi ebyo ebyandiko mu maaso ng’Omwami Pyati Sololo ne ku nnyanja era ne ntandika okusanyuka n’okukola emirimu gyange. Omuvubuka omu n’atuyigiriza okukola emitego egy’engeri ezitali zimu ng’egy’emiriiti, egy’emmanduso, egy’obukunizo, egy’amakanda era n’emisimbattaka nga totaddeeko bigu ebitonotono, gye twasasira ensiko eyali etuliraanye ne tukamala. Emirundi mingi gyatuwonyanga nnyo ku maluma. Olwali olwo twali tugenda tulambula emitego gyaffe ku ggogolo, ne tulengera omuntu ku katunnumba mu nnimiro ne tugendayo okulaba ky’akola. Bwe twamusemberera ne ndaba nga ye musajja eyampolereza eri Omwami. Yali yeebakidde ebiro bingi ddala nga mukadde bukuku naye ng’akyesobola. Yalina ekirevu kya lutuula ekyamukwata emba zombi kyonna tukutuku n’enviiri ze nga zimukirako obuyira obw’ejjobyo okutukula. Amaaso gonna gaali gajjudde enkanyanya era ng’agudde n’embugubugu ate ng’alabika ng’amaaso ge gayimbaddemu. Yali asomba ntungo eyalimibwa ku nkalajje y’akawaala ako ng’agiteeka ku lukanganga. Bwe twamutuukako n’atulamusa n’atubuuza kye tubadde tukola eyo mu lukakaba gye twafulumira ne tumunnyonnyola nga bwe tumukwasizaako ne ku mulimu gwe. Nga tumaze okumulombojjera byonna ebitufaako, ne mmwebaza okumpolereza eri Omwami. N’ayisa omukono mu maaso obukiikakiika ng’asala entuuyo n’antunuulira enkakaba n’assa ekikkowe n’afuuwa ekiwa ng’akizza munda era n’enneetondera nga bwe yali anneerabidde. N’atugamba nti, ‘baana bange, mutuule mbabuulire.’ N’atuula nga bw’akekejjana ati n’okuddiŋŋana erinnya lye nti, ‘Wo -o -o ! Muyodi, Muyodi, Muyodi, Muyodi oli!’ Nga tumaze okutuula n’atunyumiza ebifa ku Mwami oyo Pyati Sololo naye nga byonna bitiisa. Yatubuulira nti Omwami oyo muwalanye nnyo nti bw’akuwalana oba tonnafa taweera era nti takoma ku ggwe wekka naye nti n’ab’omu maka bonna abazza mu kkoowe lye limu. Nti ate waliwo olugambo olutandise okuyitaayita nti muwala we Mirembe akwagala sso ng’ate omuwala oyo abavubuka be yaakassa so batono abawambibwa amaaso ge. Omwami y’alina gw’amwagaliza naye kale ebyo ka tubimme amazzi bisirikke. Nze ne mmutegeeza n’omuwala oyo nga bwe nali siyogerangako naye yadde okumulabako. Naye n’abinsazaamu ng’enyeenya n’omutwe nga bw’agamba nti, ‘weewaawo oyinza obutamumanya naye anti, ‘olugambo muliro’ gwokya n’atagukumye ate kasita gukoleerera mu ssubi ekkalu kitwala ebbanga nga tegunnazikira. Naawe nno lowooza erinnya lyo lyayita dda mu nsi olw’okutta empologoma, kaakano kyenkana buli muwala akwegwanyiza olw’obuzira. Kale nno olugambo nga luno bwe lutandika ani ayinza okukugaanira? Olugambo luno oba lutuufu oba si lutuufu, ekyo tekijja kulugaana kutuuka ku Mwami. Osaana oyige nnyo okulwanyisa amafumu kubanga emitego gye emirala bw’oligisumattuka, ogw’okulwanyisa amafumu gwe guliba nsalesale era gwe gulisalawo eggoye’ Mba nkyakotese omutwe ‘kyakwogera ambuze’, Mikolo n’annyamba n’ambuuza nti, ‘Kale atalina anaamugunjula mu kulwanyisa mafumu anaagayiga atya?’ KO Muyodi yagamba nti, “Oba nga mukisiimye munajjanga wano buli lwaggulo, ye ate obanga mutoola mangu, mu nnaku ntono muliba nga temubanguse mu kulwanyisa amafumu!” Aba amaliriza kino, mukaziwe n’atuuka. Yali atunuulidde ebiro bingi era nga n’omugongo biguwese butego, mu kamwa ke nga temukyali linnyo na limu wabula olubungu. Omubiri gwe obufukunya bw’emyaka egyamuyitangako bwali bwakuuliita dda nagwo ng’amagumba g’olaba gaanamye. Mu lulimi lwa leero erimu ku mannya gano ndowooza lyandimugiddemu bulungi, Lukanyala, oba ery’edda erya Mugangatika. Amaaso ge gaali gasemberera okuzigama era ng’ayogera avumiira ate ng’abumbujjamu naye nga tannawutta. Erangi ye esinga, obukadde bwali buginaabudde ku mubiri gwe naye ng’alabika nga mu buwala yali mulungi. Kagingo yali amumesse enzirugavu esanyusa era ng’amugoogodde bulungi. naye mu kiseera kino yalabika ng’asiba byangu nga n’ebimu by’asiba bikutuka. Okusekako nno nnyazaala ng’omusaasira anti ng’olowooza nti olunaazisirisa ng’akala ng’akenkenuka bukenkenusi! Erinnya lyennyini yayitibwanga Kulwawokulaba. Bwe yamala okutulamusa n’antunuulira n’agamba bba nti, “Olabye omwana ono bw’afaananira ddala omuzzukulu Pyati gwe yatta?” Ko bba nti, “Nange ekifaananyi ekyo nakirabye dda.” Ko nnakyala nti, “N’oli yali yenkanira ddala ng’ono we yattirwa, sso nno singa kaakano aliko n’abaana abakulu!” Nagenda okulaba ng’ebiyengeyenge bimuyunguka ne nsulika amaaso gange, nagenda okugabbula nga ndaba asangula amaziga mu maaso. Oluvannyuma n’asitukawo n’agenda naffe ne tugenda ne Muyodi eka. Omanyi yatuwaliriza tutuukeko mu maka ge nga tetunnaddayo waffe, tugalabire ddala Akayumba ke kaali katono naye nga kayonjo. Bwe twatuuka awo ate n’atwaniriza buggya n’atulamusa. Bwe yamala okutwaniriza n’atulaga amafumu n’engabo bye yanyaga mu ntabaalo n’ebirala ebyamuweebwanga abantu abakulu. Ebyo bye byatukkusa okutegeera nti mu biseera bye yali musajja mulwanyi nga muzira kkungwa. Twali tusiibula, mukyala nnyinimu n’ategeeza ng’emmere bw’eyidde era nnyinimu n’atusaba tumale okuwooma nabo. Newankubadde nga nali saagala kulya mmere efumbiddwa wa bikaata, naye olwa Muyodi okutwekubiirako, twakkiriza okulya nabo. Emmere yali nnungi ddala omukyala ye yaliira ntula ezaali zimyuse nga ziriko n’amalule era n’enswa ezaali zigaayegaayeemu. Yali ayagala okukolezaayo Muyodi ekigaaga ye n’agaana naye kulwawo yalabika ng’awoomeddwa nnyo. Ffe twaliira bbuga nga mulimu n’ennyaga. Bwe twamala okulya ne batuwaayo omuvangata gw’obutiko n’olubatu lw’enswa tutwalireko ab’eka ne tuddayo nga tusanyuka. Bwe twatuuka eka, twasanga nnyinimu yeekabye n’atubuuza nti, “Mubadde muleggukidde wa?” Twalaba atandise okutemereza n’okwenyinyimbwa n’emimwa nga gimutoobera ne tumanya ng’asunguwadde nga tumwamuka. Gye twali twamunnyonnyolayo luvannyuma ng’ettumbiizi lisse.

 

                     Nsisinkana Birungi tebikka Mirembe

 

Ku nnaku ezimu ez’ekyeya, bwe twamalanga okulya ekyemisana nga tugenda mu kayumba kaffe ne tuwujjaalako mu ggandaalo era ne ku lunaku luno bwe kyali. Tuba tuli omwo, nze nno ng’otulo tuutwaliriza, ne tuwulira atuyita mu kaloboozi akatono nti, “Ab’omwo, ab’omwo” Mikolo n’ayanukula nti, “E-e-e” Ko ye nti, “Nze” Ko Mikolo, “Yingira.” Ne wayitawo akabanga ng’eyayise talabikako, Mikolo kwe kugamba nti, “Simanyi nnyanukudde gazimu!” Ko nze, “Kanfulume ndabe.” Mba nneesimba nti mu kisasi nga ndaba Meeya ava ku lusebenju lw’enju yaffe n’atulika n’aseka nga bw’atunula emabega. Nze kwe kumukaayukira nti, “Lwaki okutuzannyisa n’otugaana okuwummulako awatali nsonga?” Ye n’addamu nti, “K’oyombe nno nga n’omugenyi azze okukulaba awulira.” Ko nze, “Mugenyi ki? Nze sirina bagenyi bankyalira mu ttuntu” Ko ye, “Oswi! Ate saagadde omunkube nze amuleese!” Nga ndowooza nti Meeya anzannyisa buzannyisa nga bwe yatukolanga oluusi. Kye nava mmuleka wabweru ne nzirayo ne nneeganzika awo ku ddiba lyange. Meeya teyayingirirawo, yajja luvannyumako n’aŋŋamba nti, “Omugenyi ayingire?” Ko nze, “Mwana wa nnyabo, tonzannyisazannyisa bwotyo.” Ye okwandibadde okuddamu yasikayo mukeeka n’olubugo, n’abyaliira wabbali awo n’alyoka agamba nti, “Wamma yingira nnyabo.” Omugenyi ne yeesoobolola ayingire. Nze amaaso gange nali ngabunyizza omulyango , omugenyi yasisinkana gamuteeze. Nali nange sikyetaaga kwebuuza nti, y’ani. Bwe yatuuka mu ddiiro wakati, n’asikattiramu n’amagamaga. Meeya kwe kumugamba nti, “Jjangu otuulire wano.” Nze nno olwo kitawe nga mpejjawejja era ng’entunnunsi zinkuba ng’ezinaambukamu oba n’okwasaamirira nayasaamirira nga mmutunuulira.

 

            Mirembe mulebevu naye muka

 

Kkye nzijukira, kye kino nti omugenyi ng’amaze okutuula, Meeya ne Mikolo nga bamaze okumulamusa, Nze Meeya n’aŋŋamba nti, “Ggwe munnaffe abagenyi abakyala ewammwe tobalamusa?” Ne nva kyenkana mu kirooto mwe nali ne nzisa ekikkowe ekyansimattuka ne nnamusa Mirembe. Yali wa kitema, mutono nga wa katakketakke. Omubiri gwe gwali mulebevu ate munyirivu nnyo, omutwe gwe gwalina akakoona, enviiri zaali za kaweke nga za luwe. Amatu ge gaali mawanvuwanvumu nga galina embuga nnene. Ekyenyi nga kya masega, akayindo ke kaali katono. Amaaso ge gaali manene ga ndege nga mu kiwanga tegatuulamu wabula okuligita obuligisi gati gati. Obukowekoowe bwe bwali busoonoofu ddala, ebisige bye nga bya musoke. Obumwa bwe butono ng’obwensumbi nga bulimu amannyo ga kasenge, nga mu lubu olw’engulu mwetondeseemu akazigo. Emba zaali mpanvumu era bwe yamwenyanga oba okuseka nga ku matama kujjako obunnya. Ensingo ye yali mpanvu ate ng’esibaganye ebiseera. Engalo ze zaali za mbidde nga zijjudde kisunje. Ebigere bye byonna nga bituukiridde. Amabeere ge gaali ga biteeko ga mpummumpu yenna nga mutereevu mu kikula kye. Amagulu ge gaalinamu ebitege bitono era ng’atambuza ssimbo nga yeesiira. Eddoboozi yalina ttono era ng’ayogera mpola. Ate nga lwa kuba mukekkeze era nga mutono bw’atyo, naye ng’alina ekitiibwa kimulabikako era ng’alabikira ddala nga wa magezi. Mu magezi ne munne Meeya ng’amwasimula n’ekisa kye nga kingi mu mwoyo. Nga tumaze okumulamusa era nga nze nkyamuwagise amaaso, ye bwe yakyusa amaaso ge mangu okugaggya ku Mikolo, n’asisinkana n’agange n’amwenyaamu n’alyoka abuuza Meeya nti, “Lwaki ono mwannyoko antunuulira ati! Nedda, nedda, nze mba kumanya nga ndi wa kutunuulirwa ntyo sandizze!” Ko Meeya nti, “Mwanawattu ndaba wazze kumulaba , ka naye akulabe akwetegereze tebalikumuyisaako. Ye oba akwagala!” Mirembe: Oba nze simwagala? Meeya: Lekayo! Nga beesekera! Bwe waayitawo akabanga, Meeya n’afuluma; bwe yatuuka mu luggya, n’ayita Mikolo nti, “Jjangu bakuyita.” Awo nga tusigala ne Birungi tebikka Mirembe mu nnyumba siyinza n’akatono kunnyonnyola obuzibu bwe nalimu mu kaseera kano. Nze nali simanyidde kwogera na bawala , anti ng’abo be ndaba bulijjo be b’oku muliraano, ate nga ntera kubasanga ku mugga ate ng’okuggyako okubatikka ensuwa zaabwe era n’oluusi okufuma nabo enfumo awo mu luggya akawungeezi nga tuli bangi wamu, nga sidda nabo awo mu mboozi. Ensonga endala, Mirembe ono, guno gwe gwali omulundi gwange omuberebyerye okumusemberera ate nno gattako ye okuba omwana w’Omwami. Ate era mu kaseera kano namulowooza okuba omukuumiize newankubadde ng’oluvannyuma nategeera nga kwali kumutya kwe kwandowoozesa kutyo. Naye ebyo byonna awamu byambuza kye nnaanyumya naye. Bwe nabanga ŋŋenda okumugamba kino ne kinnema ate ne ndowooza kirala. Ebbanga ne liyitira ddala nga mmeggana n’ebirowoozo byange era ndowooza ye Mirembe enseko nga zimuttira muli kimugunyu. Naye ajja okunsala ku muguwa ye Mirembe yennyini. Nali ntunudde nti wansi, bwe nagenda okubbulula amaaso nga ndaba anjegese amaaso gombi. N’amwenyaamu n’aŋŋamba nti, “Bannange abajja okubakyalira osiriikirira basiriikirire? Ye obwedda oyagala kuŋŋamba ki?” Era ye n’annyamba ng’aleetereza emboozi ng’abuuzabuuza ebintu bingi ku bulamu bwange nange ne munnyonnyola ebimu ku byo nga saagala kumumalirayo byonna naye ye ng’alabika amanyi bingi ku nze okusinga bwe nayagala. Ekyo kye kyantegeeza ng’omukwano gwabwe ne Meeya gwali gugenze wala nnyo ku nze. Nze bwe namubuuzanga ebimufaako nga yeddiramu kimu kyokka nti, “Ekyo ndikikubuulira olulala.” Nalwa ddaaki ne mmugamba nti, “Obanga ggwe totera kulabikalabika, kale ndikusanga wa okubimbuulira. Ate sikulwa nga siriddayo na kukusemberera!” Ko ye, “Oba nno olowooza obutaddayo kundaba lulala, ate olwo bye nnaakubuulira binaakugasa ki?” Sso nno oba oyagala, siraba kinaakuziyiza kundaba. Anzudde kati era y’alinzuula ndaba baalugera dda nti, “teguzibirwa kkubo.” 

 

              ‘Mbulira mu kibira ne nnwana n’essota’

 

Ekyeya bwe kyabanga kiri kumpi okwewerekera , abakazi n'abawala nga babeera mu keetereekerero ka kutyaba nku, nga beetegekera ebiro by'enkuba, emituba gyonna mu nsuku ne bagijjuza ensekese z'enku. Lwali lumu ng'ekyeya kino mwe nasooka okusemberera Mirembe kiri kumpi okuggwaako, abawala ne bansaba mbawerekere mu kibira ewala batyabe enku kubanga awo okumpi zaali zikeeye. Nange nga nsitukiramu ng'eyatega ogw'ekyayi kubanga nali njagala okutemayo ebisiki eby'ekyoto kyaffe ate nga Mikolo yali agenze ne nnyinimu mu kwabya olumbe. Tetwalwa nga twessa mu kibira ng'abawala batyaba nku nga nze bwe mbalinnyira ezaali waggulu ne nzisuula nga bwe bakuŋŋaanya. Enku bwe zaawera ne ŋŋamba Meeya nti, “Kammale okwenogera ku mbooseera z'amatungulu njije tugende,” nga nneesolossa mu kibira. Bwe namala okunoga amatungulu, ekkubo eryandeese lyambula. Kajja okuntanda njogere nti 'ye sso siibule' ate nga mu kibira omwo temwogererwa nti siibule' nga bw'okyogera obulira ddala. Nange kye nava mbulira ddala. Meeya ne banne bwe baalaba sidda ate nga n'obudde bwemalayo, nga bakolongola nsekese nga beggyawo. Nze nalaba mbuze, ne nkoowoola ku bannange naye ng'amaloboozi ganziramu okuva ku njuyi zonna nti, ‘Wuu wuu jjangu eno tugende.’ Bwe nagendanga ku ludda gye mpulidde eddoboozi nga lyo ligenda lyeyongera eyo ewala akaseera katono ate nagendanga okuwulira nga limpitira mabega. Bwe ntyo ne mpapira mu kibira omwo okutuusa obudde lwe bwakunira. Nalaba sirina ganaakwata ngo mu mannyo, nga ndaba tti ddene nga mpalampa nga mpagama omwo obudde kkejenge. Obudde olwali okunyiimuulamu buti, nga nzika kunoonya luwenda lwandeese. Nga nno ndulabako? Nga ntolontoka mu kibira nga ngomaagomera omwo okukamala. Obudde nga butuuse mu gwango, ne ntuula mu kisiikirize ky'etti mpummuleko, kazzi n’essota we lissiza ekikkowe. Mba ngalamidde mu bikoola, nga balireese lijja buteesagga livvunkana nga bwe likwakwaya. Bwe lyasembera nga nange olwo ntudde, ne likangalalamu, mpozzi linneetegereza. Awo we naliwujjira ekisigo ko lyo nti olimba ebyo byatiisanga ba dda. Nalaba lijjira ddala, ko nze wano wafiira muloge nga nsituka kuyotta. Ko lyo, omala kunnyoomoola n'odduka? Nga linsimbako. Bwe ntunula emabega nga lijja liraaka, ne nduma. Nsisinkanye ekibinja ky'ebisolo, nabyo bwe byekanga, ne bibuna emiwabo, oba byali mu kuteesa oba mu tulo saamanya. Mba ngoberera oluwenda ekisolo ekimu mwe kiraze, ne kidda nga kiriko n'obumansuka. Okugenda okwekanga, nga kyantomedde dda kiwuunyeemu amavumira kiyosse. Nze ndaze gye kivudde. Ŋŋenda okulaba ng'ebigo ebito bibiri birigita wansi w'omuti ne nnyina waabyo nga n'ensajja weeri. Nalaba sijja kufuna geerijja na ngo ziriko zzadde, nga nsala ga kuziwa kyanya. Nasooka kutambula kisezi nga ntya nti bwe ngikuba enkoona ng'embuukira. Nayisa emiti nga giigyo ne nkyuka ne nfuumuuka emisinde gye wali olabye. Singa nange nakisanga mu luwenda luno, nze nandikitomedde! Ssessota eyali ammezeeko saamanya we yakoma na gye yalaga.

 

        Natta ‘embogo’ eyali eremye abangi’

 

NGA bannunudde okuva mu kibira, namalira ddala ennaku nga sitegeera bulungi bya ku nsi. Naye bwe nazuukuka nalaba Mikolo ayimiridde awo, omanyi bankuumanga mu mpalo ne Meeya. Olweggulo Meeya n'aleeta Mirembe andabeko era yasanyuka nnyo okulaba nga mbategeera naye nga nkyali munafu nnyo. Mirembe olwannambula ne nzisuuka mangu. Bwe nassuuka era nga mmaze okuwulira Omwami bwe yakinaggukanga ng'awulidde bwe mbuze, ne mpaggirira okuyiga okulwanyisa amafumu era ne nneeyongera okumwekeka. Waliwo ekyekango ekyatutuukako nga kyenje nzisuuke, naye ate kyanfunyisa emikwano mu bavubuka abamu n'abawala b'omu kisaakaate. Omwami yalina ebiraalo by'ente bingi nga mwe bamuggyira ente ez'okutta. Lumu baaleeta ente ennume nga yaakutta. Ente eyo teyali nte, leero ŋŋamba nga mbogo bubogo. Baba bagiserengesa mu bbaagiro, ne yeesimattula ku babaazi n'ebalaga enkoggo, n'etandika okutomera buli muntu gwe yagwikirizanga. Oluvannyuma ng'emaze okutta abantu basatu nga n'abeebiwundu ewezezza, Omwami n'alagira bagiyiggise amafumu n'ebitimba. Obuzibu obwaliwo, nga tezigika anti nga terina nfo ya nkalakkalira w'ebeera, wabula okusamaala obusamaazi mu byalo byonna ebyali okumpi. Kale nno mba ndaaladaalako olweggulo okumpi n'embuga y'Omwami, ne nnengera abawala b'omu kisaakaate nga bagenda okuyunja, batambula nnyini beerinnyako. Okugenda okutebuka nga ndaba ente empitako emasuka butego. Munnange, atemya alwawo. Okugenda okwezimuukiriza ng'egudde mu bawala b'embuga ebagoya. Ne njagala nziruke, naye bwe nalaba nga tewaliiwo musajja kumpi wa kubajuna, ne ŋŋenda mmale gawadaawadako, ggwe ate eyali eremye abangi! Olwo nno nga yaakatomera abawala basatu. Omu emumenye embiriizi bbiri, omulala emuwumuggudde ekisambi, omusaayi gutiiriika ate omundi emumenye omukono bali awo bavuya, nayo endusu zigiwandagala. Bwe nagituukako ne ngikuba omuggo, bw'eba ekyuka eti ekangalala ejje entomere ne ngikuba ogwokubiri mu nkwakwa ya kkono, okugwa wali nga nkalu ya jjo. Abantu bangi abaawulira. 'Olwali ku njovu e Kavumba' lwali lutono, ne beesomba. Nali nneeseebulula nziruke, abawala n'abantu abaasookawo ne bantaayiza era mu kaseera katono nga sikyalina we mpisa kigere, abantu ne banzengerera. Waaliwo omusajja omu n'asibako banne bonna, n'abategeeza ng'ente eyo bw'ebadde ebamaze obwoya ku ntumbwe era nga bwe yanyaamizzanyaamizza gundi ne gundi ate omu nga bwe yamwekwesezza e buziizi, omundi n'emuwalampya ejjirikiti ate omulala n'emwekukumya mu luwonko. N'amenya amannya nkumu nga n'agamu ku g'abaana b'Omwami mwegali, n'amaliriza nti, 'Singa tabadde muvubuka ono, ndaba n'olwaleero twandigubiddegubidde bwereere!' Sso nno mu butuufu nze okugitta, yali ekooye nga n'enjala egiriko. Abantu nagezangako okubannyonnyola ebituufu nga tebaŋŋanya, bawowoggana buwowogganyi n'okunneebaza. Kino kyanyiiza nnyo abaana b'Omwami. Akawungeezi ako Mirembe yajjako ewaffe okunneebaza n'ambuuza nti, 'Ggwe omutono ate omuto bw'otyo, amaanyi agakuwala gatyo ogaggya wa agalikuwalanyisa ne bakututtira? Yalaba nsirise n'agamba nti, 'Owange Meeya, ekyana kyo kino lwaki kirina ensonyi kiti? Singa si maanyi ago ge kirina, ggwe wandisaanidde obe omusajja kyo kibe ekikazi, sso ekirina ensonyi kiti!' Nze saamwanukula, nga simanyi kye nnyinza kupaatiikawo, anti nga n'amaanyi g'agamba nze sigeewulira.


Abampembe bannumba ekiro bammize omusu


NAJJA yatugamba nti amawulire g’olukwe lw’okunzita yagategeeza Mirembe naye n’amutegeeza bw’akuumibwa ennyo era taasobole kujja kutulabula. Yatutegeeza nti Mirembe ye yamusalidde amagezi ag’okwebuzaabuza.

Najja yatutegeeza nti Mirembe atwegayiridde tuleme kusula mu nju yaffe, nti tetunaanyiza mu kabi kano era nti “bwe tuva ku bibye tugenda ku wa ngatto.” Nti era yatya nnyo n’alowooza nti oluyombo lwe ne Kagulukankwale lwandiba nga lwe luzadde ebyo byonna!

Nze ne mmudamu nti, “Omugamba nti, ekikye kyasangiriza ku lukulu nti ggambo bbi….! Lwo ne bwe lutandibaddewo, kalusambulira yali yakoleera dda ng’alindirira mpewo kutumbuka.”

Najja n’amaliriza ebibye nti, “Era Mirembe yabasabye mumukakase nga temujja kusula mu nju omwo.” Nze nali omwangu ne mmusaba amutegeeze nga bwe tutajja kumusuubiza nti tetuusulemu, naye era nga bwe twali tetujja kweteeka mu kabi konna. Najja n’assa ekikkowe ng’omuntu abadde yeetisse eggugu eddene, n’atusiibula. Okutemya n’okuzibula ng’ebitooke byamumize dda.

Najja bwe yagenda, era nga tumaze akabanga nga twewunise, Meeya n’atubuuza kye tuteesa okukola. Nze ne mmunnyonnyola nga bwe tuteekwa okusula mu nju omwo. Bombi, ye ne Mikolo ne bajuukira wamu nti, “Ki! Kusula mu nju omwo? Ng’omulalu? Oyinza okussa omukono gwo mu kamwa k’empologoma ng’olaba?”

Ne mbannyonnyola nti bwe katutanda ne tusula mu nju endala bajja kutuketta batulumbeyo, ate nti tujja kuba tutwalidde ab’omu nju eyo olwa nnabamba era nga kyangu okuwubwa ffe ne bafumita omuntu omulala. Bwe namala okubannyonnyola entegeka gye nali ndowooza okutuyamba ne bakkiriza, naye nno ng’enkalu zimaze kwenyoola.

Mu ttuntu wakati, we twamanya nti abantu tebatera kutambulirawo, we twasombera emiteteme ne tubugiriza akayu kaffe konna munda. Awali obuliri bwaffe twebunguluzaawo ebbugirizo ly’emiteteme emigigi esatu ne tuwoola ku ttaka obuliri bwaffe bubeereko wansinsi omwo mwe tuba tweyalira.

Naye bwe gwatuuka ku anaasulamu ne bugayaggaya, Mikolo nga y’ayagala asulemu nze nsuze ba Meeya kubanga omukulu nnyinimu Kirimuttu yali amaze ennaku nga taliiwo, ye Mikolo nga y’abasuza. Ne tukaayana nnyo ku kino nga nze muli munda saagala musajja wa bandi afe lumbe luno lukwatire. Nga nze bwe nfa, era nno kale kubanga eyali ayagala Mirembe ye nze so si Mikolo. Empaka bwe zaali ziremaganye ne nsaba Mikolo tugende ewa Muyodi atusalirewo. Tuba tusituka tuti nga ne Muyodi ono!

Mikolo bwe yamala okumunnyonnyola nange ne mmunnyonnyola nga bali tubasuza mu mpalo nti oluwalo olwange lwali luwedde nga Mikolo y’ali mu luwalo; nti nno nze bwe nzikiriza Mikolo okujja okusula mu nju yaffe nze nsule eri n’amala abaako akabi ng’ate oluwalo terubadde lulwe abalikiwulira bonna bagenda kunsekerera bannyoome nti yassa munne!

Era ne nnyongera nti “Mikolo sijja kumugulamu byayanga, kubanga mmanyi nti nga bamusse, olunaavumbula ensobi yaabwe, ng’amaanyi gaabwe gonna bamalira ku nze ate sirowooza nga n’embooge eneebuguma nga tebannankwasa; anti nammwe mumanyi nti ekibadde kikyabalwisa ffe kuba babiri, munnange Mikolo kasita anaavaawo, n’obudde tebuliziba nga tebannankuba ku ssekalootera. Olwo abantu nga boogera ku linnya lyange nti kalyose ne kafa kassa munne waako ng’ate ne Mirembe bamutwalirako olw’okwagala akaziribongo!” Ne mmaliriza nga mbasaba oba nfa nfe bwomu, nti bwe balimanya nga nfudde mpozzi baliweera ne bawa Mikolo akaagaanya okuwoolera eggwanga.

Bino nno byonna nabyogezanga luggumuggumu era Mikolo byamunyiikaaza nnyo ate Meeya nga naawe bw’omumanyi omukazi ye yadda mu kukaaba bukaabi. Nga mmaze okunnyonnyola ntyo, Muyodi n’akkiriza Mikolo andeke nsule mu kayu kaffe.

Eky’ekiro munnange nno kyakaawa! Nze nalyako ekitole kimu, Mikolo simanyi bisatu oba bina ye yatusinga obugumu. Meeya teyalya era n’abalala bwe batyo baalya ekitole kimu bibiri. Bwe twamala okulya, bannaffe be twali tulagaanyizza okujja okunyumya ne batuuka ne tufumaafumamu naye nga n’enfumo tezitereera; era waayitawo akaseera katono ne twabuka.

Bwe twali tuwerekera abagenyi Meeya eyandi ku lusegere n’ambuuza nti, “Ekyemuludde engulu wali mu lusuku okirabye?” Ko nze, “Nkirabye.” So nali ndowooza nga nze nkirabye nzekka. Ye kwe kuwa ekirowoozo tukome nga tetunnatuuka we twakirengera. Nga nkomyewo nnyingira, Mikolo ne Meeya ne bansiibula ne bagenda mu nju yaabwe. Olwayingira nga nneesuula ku buliri bwange naye akaseera akaddirira buli lwe nkajjukira neesisiwala. Natuuyana emigigi gy’entuuyo ena nga gikala ate nga n’akanyeenyenkule okungwako nga kamala okunkunkumula.

Nga wayiseewo ekiseera kye nalowooza okuba ekinene, nga ndi mu kutya ne ndowooza nti tebakyazze. Kazzi “njoza ntamu ng’abagenze okuyigga tebannadda” kubanga mba ŋŋenderera bwe nti okwebaka ne mpulira akasekeeterera mu kisenge ng’ogeraageranyizza mu mbiriizi zange. Nasooka kulowooza nti mmese, naye bwe nalwawo nga mpulira okusekeeterera kusiriikirira ate ne kutandika era nga mpulira ng’omuntu eyeeseguunya ebweru (anti bw’oba otya towulira osuula matu) ne ndyoka ntegeera nti ab’omukago bagobye.

Omusiru nze! Nali ndowooza nti banaayita mu mulyango nga ŋŋamba muli nti bwe bayita eyo bananzita nange nneerwanyeeko anti atakulekera….” Naye bwe badda mu kukuba empungu mu bisenge, eby’okwerwanako ne mbiziika n’effumu lye nali nsembezza nga ndisindika eri. Olwo ne nnindirira ekinaddirira.

   
Tutta omukago ne Mirembe’


EBYEWUUNYISA nga bwe bitaggwa mu nsi, na kino kyanneewuunyisa nnyo. Olwali olwo nga tugenda wa Muyodi olwegguloggulo tuwayeemu era tweyongere n’okulwana.

Tuba tuli eyo nga Meeya, Mirembe ne Najja bagobye. Twabalabira eri nga tubaaniriza nga tubalamusa naye ekyasinga okunneewuunyisa kwe kulaba nga Mirembe ne Meeya baali bamanyiddwa nnyo mu maka ago kye nali sisuubira kubanga twali tetubasangangayo wadde omulundi ogumu ate nga ne Muyodi taboogerangako, okuggyako luli lwe namunyumiza oluyombo lwa Mirenbe ne Kagulukankwale era ne lwe yannyingizaamu ekirowoozo ky’okuyiga okulwanyisa amafumu n’engabo.

Emboozi eba egudde amakerenda, Mirembe kwe kumbuuza gye nali mbulidde era nange okwandibadde ng’okumwanukula, ne mmubuuza ekibuuzo kye kimu. Ng’asiriikiridde okumala akabanga n’anziramu nti,

‘Nali gyendi. Ye ombuuliza ki? Manyanga wagamba nti nkwesibako so nga ggwe tonjagala.’ Kino kyanzigya enviiri ku mutwe era kyansuula wala kubanga nali sikyogerangako. Nayagala mmubuuze eyamubuulira ekyo naye teyaŋŋanya n’ankwata nakyo amavumbavumba nti, ‘Nedda teweegaana. Bw’onoova awo nga weegaana nti tolina na muwala mukwano gwo ludda eyo,’ n’asongayo olunwe nga bw’abiina ensige.

Ne mmunnyonnyola nti
omuwala taliiyo era ebigambo biri nze sibyogeranga. Ye kwe kuddamu nti, ‘Kale kale, kiwedde tunyumye birala. Ddala kino kyankeeta nnyo. Kye nava njagala nnyongere okumunnyonnyola naye annyinyonnyole tutegeeragane ku nsonga eyo.

Mba nnaakoogerayo ekigambo
kimu n’aŋŋamba nti, ‘Ssebo
nno amalusu go gagendera ki? Nze ebyo nabimaze sikyabiddamu, leka n’okukusegulira nkusegulire,’ n’asituka n’afuluma.

Kino kyannema
okugumiikiriza. Aba atuuka mu luggya ne mmulumba ne mmukwata emikono mu biseke ne mmunyeenya, ye nno ng’olwo atunudde ku ttaka. Ne mmusaba antunuulire naye n’asitula mpola amaaso ge okutuusa lwe gaasisinkana agange n’ayogera mu ddoboozi erisinga obukambwe nti, ‘Mwana wattu nno nta ojja kummenya emikono era laba giigino girungudde, genda eri mu mikwano gyo nze nvaako. Naye abasajja temuli bantu era temulina mwoyo!’

Kwe kumubuuza oba mu mazima yalowooleza ddala nga simwagala. Okwandibadde okunziramu, yansaba nneme kumuteganya kubanga yali amanyi byonna anti ng’asirika naye amanya’. Eyannimirira, enkumbi yalina njogi era n’ebigambo eyabirunga omunnyo yagunoza.

Mba nsigadde kumira mangota, Meeya kwe kujja n’annyamba nga bw’ajuukamu akatono nti, ‘Bannange, ggwe lwaki mwannyinaze omuwaayiriza nti takwagala? Nze mmanyi akwagala nnyo mpozzi ggwe tomwagala. Ko Meeya, ‘Nze! Ye nno ggwe wandigambye otya? Enkima esala ogw’ekibira? Ddala mwannyoko ono tanjagala.

Meeya: Bannange, akwagala oyagala akwagale atya, akukolere ki era akuwe ki?

Wano ne Mikolo we yayingirira mu mpaka kubanga naye yali yazze dda ng’ayimiridde awo ku bbali n’agamba Meeya nti, ‘Nedda, oli tomuzibiikiriza buzibiikiriza, ndowooza era waliwo ensonga emwogezezza ekyo.

Mirembe: Ggwe wamma ssebo weeri.

Zinunula: Nsaba ekintu kyonna ky’oyagala olabe oba nnaakikuwa olyoke otegeerere okwo oba nkwagala oba sikwagala.

Ye nga tannaba na kukisaba, nze olw’okwagala okumukakasa nga bwe mmwagala, saalowooza na ku ky’anansaba wabula nakkiriza bukkiriza nga bwe nja okukimuwa.

So nno kiba kiseera kirala, ndowooza sandikkirizza kigambo kya buzibe bw’amaaso kityo, naye mu kiseera kino saalina kirala kya kumponya.

Mirembe kwe kutegeeza nga bw’atajja kweteganyiza bwereere kusaba kantu konna era nga nange bwe sisaanidde kwemalamu ng’ate mmanyi nti sisobola kumuwa ky’anansaba. Nze ne nnyongera okuggumiza obweyamo bwange.

Yalaba nnyongedde okukikakasa n’aŋŋamba nti, ‘Jjangu tugende wali awali abakulu nkikusabe nga nabo balaba, naye onooswala bwe kinaakulema.’ Bwe twatuuka awali Muyodi ne Kulwawo, Mikolo n’annyonnyola empaka nga bwe ziri era nga bwe baali balindirira okuwulira ekisabibwa.

Mirembe kwe kugamba nti; ‘Kale oba anjagalira ddala, tutte naye omukago.’
Kino kyanneesisiwaza era kyagejja nnyo okusinga kye nali mmusuubira okunsaba.

Bonna nga bakyasiriikiridde, Meeya n’annyonnyola nga kino bwe kiri ekizibu ennyo era nga bw’asaba Mirembe asabeyo ekirala nti kubanga kino singa kituuka mu matu g’Omwami, obwange bunaaba bukomye.

Mikolo ng’amaze okwogera ebigambo bye ebyali bigudde olubege ku ludda lwa Mirembe, ne Muyodi n’ayogera ebibye era nabyo nga kibuyaga abiraza ludda olwo nga basembera ddala nze nkole ekyansabibwa kubanga nasuubizza obweyamo obwo nteekwa kubutuukiriza.

Nagenda okulaba nga Meeya akyukira mu kiti nga mbazzi ng’adda ku ludda lwa bali nga bakka ku nze nga bafukuutirira ebigambo nga bakamala.

Mirembe yalaba ngugubye n’agamba nti, ‘Bannange saabagambye nti ono anguyaaguya. Nze sirina kirala kye nja kumusaba wabula bulijjo njanga kukijjukira nga bw’andaze abaagala bwe bayisa bannaabwe.”

Awo n’asituka n’agamba Najja nti, ‘Gira tugende mwana wa ssebo.’ Olwo nno ng’ebiyengeyenge bimubunye emmunye zonna. Mu kaseera ako emmeeme yange we yagisindulira ne nzikiriza ne tutta ne Mirembe omukago wakati w’abatono naye abatanjabulira mu buzibu bwonna.

Nga wayiseewo emyaka nkumu ddala, Mirembe n’ambuulira ekyamuwaliriza okutta nange omukago era nkakasiza ddala nga ye yalengera wala nnyo okunsinga!

Mirembe antonera ebimuli

OLWATIKKA Mirembe ne banne ensuwa zaabwe, nalowooza nti omuzannyo guwedde. Naye buli omu yagaana okukulembera nti anaalumirirwa y’anaggulawo. Nalaba obudde buyise nnyo ate nga bo balabika tebabufaako, nze ne nkulembera.

Era nkyakyewuunya, kale lwaki saabaleka nga mmaze okubatikka ne nneddirayo. Naye anti olunaakutta….! Era akabi nga kanajja, ekikere kidduka nga mpewo. Bwe mba ntambuddeko akabanga, Meeya n’ampita nti,

‘Mwana wattu jjangu ompeereze akakomo kange kagudde sisobola kukalonda ng’ensuwa eri ku mutwe. Nga ŋŋenda nkamuwe. Bwe namutuukako n’aŋŋamba nti akake si ke kagudde wabula aka Mirembe. Nga mmuyitako nga ŋŋenda Mirembe we yali.

Okutunula wansi nga nkalaba ku bigere bye nga nkalonda nga nkamuwa. Bwe namala okukamuwa n’ampa ekisaaganda ky’ebimuli nga bw’amwenya. Yasooka kusikamu kamuli kamu n’akawunyako n’akasuula eri. Bwe namwebaza n’aseka nti “Hmmm! Nnyabo olina ageebaza, weebaza n’ebyoya by’enswa!

Mu kaseera ako omwana w’omwami Pyati Sololo omukulu, we yawamatukira mu kasaka akaali engulu okumpi ne Meeya we yali ayimiridde.

Mirembe bwe yamulaba ng’ajja n’aŋŋamba nti, “Munno wuuyo ajja.” Simanyi kye yasinziirako okugamba atyo naye kyandiba nti mu lulimi lwe mwe mwateekebwa okundagula olutalo lwe nali nja okuyingirira wakati wa Kagulukankwale (lino lye linnya ly’omwana w’omwami oyo).

Nali ntandulula ebigere, Mirembe n’aŋŋamba nti, “Tondeka wano nzekka,” nange ne nnyimirira. Mu kasiriikiriro ako, Kagulukankwale yajja ng’atusimbye eriiso ery’obukambwe nga lyetabuddemu n’obukyayi ku ludda lwange. Sso nno nange okuva lwe nasooka okumukubako agange yagaanirwa ddala emmeeme yange okumuyingiza mu birowoozo newankubadde tewaali nsonga emunkyayisa.

Bwe yatutuukirako ddala n’abuuza Mirembe enkangu nti “Oyo y’ani gw’oyogera naye?”

Ko Mirembe nti, “Anti naye wuuyo waali, ggwe mwebuulize. Ye bannange, ggwe bakubuuza buli gw’oyogera naye?”

Ko Kagulukankwale nti, “Toyinza kunnyanukula bw’otyo.” Luno nno yabwatuka nga ggulu anti n’obugulu bwateruka. N’agattako na kino nti, “Tomanyi bwe ndi musajja?”

Mirembe: Bw’otoyogera
tebamanya bw’oli musajja? Ndowooza waliwo abasajja abalala nga ggwe. Ate sikulwa nno nga be bakusinga!

Kagulukankwale: Ono amuwadde ebimuli bino ani, si ggwe?
Mirembe: Nedda, si nze.
Kagulukankwale: Kale oba si ggwe obimuwadde, mbuulira abimuwadde. Onnimba ompise musiru? Sikulengedde ng’obimutonera? Kale era weegaane nti si ggwe obimutonedde!”

Mirembe n’ayongera okwegaana naye Kagulukankwale ng’ayongera okumulumiriza. Wano Mirembe we yamugambira amusale alabe ky’anoonya. Kagulunkwale: Ntegedde akalenzi kano okaagala era ndowooza bulijjo gy’ogenda, simanyi n’okusulayo?”

Sso nno lwa kunnyoomoola yali tansinza kiwago. Kino nze kyankosa nnyo mu mmeeme yange kubanga nawulira muli nga kissa ku linnya lyange obuzigamu.

Mirembe: Ye omalira ki amalusu go, mbadde ogambye nti otegedde, genda eka oloope nga bulijjo. Simanyi oyagala tugwe wansi tukube amavi nandiki tuteme emivuuma egitannafuukamu tukugerekereko.”

Kagulukankwale yalaba talina ky'anaakola kwessa busungu, n'abuuza akawala kali ka Najja kamubuulire bye tubadde tunyumya, ne kamutegeeza nga bwe kabadde katawulira kigambo na kimu. Yakasokaasoka ebigambo bingi naye ne kagaana. Kye yava akawujjamu empi bbiri n'ensumbi gye kaali keetisse n'egwa n'eyatika.

Nandiyinzizza okugumiikiriza ebirala bingi naye si kino eky'okuyiikiriza ebbujje, leero 'kiiso kya mbuzi!' Nabuuka ekigere kimu nga mmukutte ne mmunyoolera mu bulago olubugo lwe yali asumise, naye mba ngalula ekikonde nkimutomeze, Mirembe n'ankwata omukono nti, 'Ku lwange nedda, nkwegayiridde muleke.' Ne mmusindika eri mu bicuucu ne ŋŋamba Mirembe ne Najja batambule tugende, era nabo bwe baakola.

Bwe nakyuka ne kansongamu olunwe nga bwe kalangiriza nti, ‘Ggwe ggwe, ky'onkoze olikisasulira. Lwe tulisisinkana awalungi, tulirya amatereke.'

Bwe twatuuka ku Meeya, Mirembe n'amugamba nti nkabasombedde! Waliwo n'ebirala bye baayogera naye sikyabijjukira.

Akabi nga bwe katabula musombi, nze nasuubira nti mu bawala abaatuyitako mwe mwali eyabbirako Kagulukankwale gye twali tusigadde.

Kagulu olwatuuka mu kisaakaate ng'akoleeza nga bwe mmukubye era nga bwe njagala Mirembe ng'abiteekako omutwe n'amagulu nti nvugula ne bakaabasajja. Kyokka bwe twali twawukana, Mirembe yankuutira okwekuuma buli we ndaga nti sikulwa nga ntuukibwako akabi, nze ne mmusekerera olw'okutya awatali nsonga.
   
Mirembe antegeeza Omwami bw’amwagaliza mutabaniwe’


WABA wayise ennaku bbriri nga tumaze okutta omukago, Mirembe n’ambuulira ekyama ekyammala akatuuyo mu mubiri.

Yasooka kunsaba mmusinyiwe olw’obutambuulirirawo kyama kino, mbu yali tayinza kumbikkulira bya lulyo lwe nga tanninaako luwenda ate ng’okumbuulira ekyama kino yali ateekwa buteekwa okulusiinyaako. Awo teyalwa n’agends ku ngeri gye yagendamu mu kisaakaate.

Bwe yali ng’akyali muto nnyina n’afa, ate nga wayise ebiro bitono ne kitaawe n’agoberera n’aleka ng’alaamidde Pyati Sololo okuba omukuza we kubanga baali banywanyi ba mukago. N’ayongera okumbuulira nga kitaawe bwe yamulekera obutitimbe bw’ebintu ebyakwasibwa omwami Pyati oyo omukuza we nti kubanga kitaawe yatya okubikwasa bagandabe ng’alowooza nti bagenda kubyekomya bamudoobye oluvannyuma. Nti nno ebintu ebyokitaawe yabifuna ng’omugabo gwe ogw’omunyago lwe baatabaala bwe yakwasiba ebintu bye ne yeeyongera nnyo obugagga n’amaanyi, anti nga leero buli ky’ayagala akyetuuseeko; nti era abaddu bangi n’abazaana abaali aba kitaawe, mu kisaakaate kya Pyati bakyalimu.

Wano we yatuukira ku kigambo ekyankunkumula ng’ayogeza eddoboozi erijjudde okutya n’ennaku n’aŋŋamba nti, ‘Omwami ayagala nfumbirwe omu ku batabani be.’ Nali njasama mbeeko kye njogera n’ansirisa nti, ‘Ogira ogumiikiriza mmaleyo bye nkubuulira.’

N’ayongera nti, ‘Ye anjagaliza mutabani we omuggulanda gwe mba nfumbirwa, kubanga amanyi nti bwe nfumbirwa oyo kiba kisalidde mu ntamu anti ebintu ebyo byonna nga bya kufunda ku ye, naye bwe nfumbirwa omulala, olwo nga batema kubyawuzaamu okutuwaako ekitundu. Naye mutabaniwe omuggulanda Kimojo Kagulukankwale anneesibyeko ng’ayagala y’aba antwala. Ye Omwami amanyi nga siyinza kumwagala ate era naye amuyita mulalu mpozzi lwa butamwagala nnyo kubanga mu ddalu ndaba nga bombi n’omwana waabo bakaliira ku njala naye anti ‘omuganzi…’ Kyokka tayagala kunyiiza Kagulu, ky’ava ayagala ekigambo ky’okumugaana kive mu nze. Olumu yampita n’ampikiriza era n’annweenweka obugambo bungi obwalaga nti ayagala omulenzi oyo mmwesammuleko, ye alyoke afune ebbanga okunfumbiza oli gw’ayagala. Eddako yambuuza oba nga nali sinnatuuka kufumbirwa era mmubuulire n’omusajja gwe njagala oba simulina ye andabire owuwe.

Nze ne mmutegeeza nga bwe sinnatuuka kufumbirwa ate ng’atya okunkaka olw’empaka. Alina abantu abaali mikwano gya kitange b’atya era nange antyamu okumulaamira omukago.

Ate ennaku zaakayita ntono kasookedde addamu okumbuuza lwe ndifumbirwa era n’aŋŋamba nti omusajja gwe njagala nzije mmumutwalire yeenywere ku mwenge.

Bwe namuddamu nti simulinna n’aŋŋamba nti, ‘Mwana wange omutwe guno ogulabye envi bwe zitandise okutobeka?

Mmanyi nno bingi by’otonsuubira kumanya anti ‘eriiso ly’omukulu...’ era ‘bukadde magezi...’ Kino ne kintegeeza nti kyandiba ng’olujeejeemo olukuliko nti onjagala, Kagulukankwale yalumutuusaako dda, sso ate nga talema anti omumwa ogugwe tegutuulira awo!

Mirembe n’ayongera okunogaanya nti, ‘Ekisinga okuntiisa kwe kulaba nga buli muvubuka gwe nsekera oba antunuulira obulungi, tewayita bbanga nga tannatibwa oba okubula n’abulirako ddala amayitire.’

Zinunula: Lwaki tofumbirwa mwana wa Mwami!

Mirembe: Mu mazima simwagala! Naye nga bwe saagala kumazaawo baana b’abakazi, ndirwa ddaaki ne mpalirizibwa okumufumbirwa.

Zinunula: ye abatta atya?

Mirembe: Abatta mu ngeri nnyingi ate oluusi mu kyama. Ayinza okukusindikira abantu ne bakuteega ne bakutta oba bayinza okukuwendula ne bakutwala eyo mu bibira ne bakugaŋŋalamiza eyo.

Emitego egyo gyonna bwe gikulemwa, alinayo gumu ogw’enkomerero nnantavvuunukwa mulamu. Omwami bw’alaba b’ayagala okutta baweze ng’ate bamulemye okukwasa mu ngeri endala yonna, olwo ng’assaawo muzannyo gw’amafumu ng’agenda agulirira agasajja ga nnakinku mu kulwanyisa amafumu. gabamuttire.

Y’amanyi gy’agawakankula. Awa amateeka nti mu muzannyo abalwanyi bafumitigana mikono gyokka n’amagulu sso ng’akuusa bukuusa kubanga abalagira bafumite mu kifuba abo b’abalaga n’obubonero babatte ate oluvannyuma ne yeekangabiriza.”
   
Omwana w’omwami ampangira abatemu kyokka ne battamu ye


NG’OMUYIGGO guwedde, tuba tukkirira ekibira, omwana w’Omwami omu n’ayimirira n’atubuuza nti, ‘Kazzi mmwe temwazze na mafumu?’

Ko ffe: Nedda anti naawe walabye bwe mwatusanze mu kkubo nga tuva kunyumyamu.

Ko ye: Ye bannange, mundabidde ku muggo gwange?

Ko ffe:  Tetunnagulabako.

Ko ye: Owa kale, si nsonga ogwo gunfudde ndifuna mulala. (N’ankyukira) Ggwe nno wabadde ogaana, gy’ofunye si nnyingi okusinga ey’abalina emiguwa ey’endola nnyini, nze nno n’okumpaako! Awo ffenna nga tuseka, naye nze nga mmanyi nti mbadde ngiguzeemu obulamu.

N’ayongera nti; ‘Ye sso mmwe nga muli ba kyewuunyo. Muddira alina ennyama y’ava emabega ate atalina n’akulembera! Yiino nno mugisibye kisaazisaazi egenda ewenena ate n’obudde buzibye. Olwo bw’egwa mutegeerera ku ki? Alina ennyama bw’akulemberamu, bw’egwa, ava emabega ayinza okugiraba oba okugirinnyako ne mugironda. Ffenna ne tuseka nga tulowooza tuseka na munnaffe.

Mikolo eyali yeetisse ennyama olwakulemberamu, mutabani w’Omwami n’agamba nti, ‘Ye nga bannaffe sikyabawulira. Batulese simanyi! Mwanguweeko tubatuuke.

N’adduka akapempenu, naffe tuba tusaayirira, ennyama yaffe n’esowottoka n’egwa, ne tussa ekitereke ne tukinyuunyuula. Tuba tusirikka mu kakubo, ne tusisinkana abasajja babiri ne tubeegattako ne tugenda nga tulojja. Naye tuba tumalako tuti ekitundu eky’ekitosi, ne tuwulira ng’omuntu akaaba nti, ‘Nfudde nnyabo!

Ne tuyimirira akakuukuulu ne tubuuzaganya nti, ‘Kibadde ki ekyo? Nze nawulira ng’ekinyonyi ekikaaba era n’omusajja omulala bw’atyo, ate omusajja omundi ne Mikolo bo baawulira ng’omuntu. Twalabula Mikolo agende mpola nga yeekengera sikulwa ng’agwa ku nsolo. Tuba tutambuddeko akabanga nga n’omwala tugusomose, Mikolo n’abuuka era n’ettu ly’ennyama ne ligwa. N’atugamba nti, ‘Bannange nninnye ku muntu, nninye ku kugulu kw’omuntu!’

Omusajja n’agenda ng’awammansa emikono n’ebigere. Twagenda okuwulira ng’agamba nti, ‘Wuuno muntu ddala n’okwokya akyayokya naye temukyali kakuba! Awo nga tudduka, bwe tukuba n’enduulu. Bwe twatuuka ku kyalo, ng’eŋŋoma zirawa, anti tezirawa ŋŋumba, ng’abantu beesomba, ng’emimuli baleeta nga tuddayo mu kibira.

Twagenda okulaba ng’omulambo gugudumadde awo ku mabbali g’ekkubo. Effumu lyamufumitirwa ku kkono ne limuyita mu mutima ne ligguka ku ddyo era yagwa nga yeevuunise. Okugenda okumugalanjula, nga ye mwana w’Omwami eyabadde atukuba oluboozi!

Enkeera Omwami yatuyita tumunnyonnyole enfa y’omwanawe kubanga yagamba nti ffe twasigala naye era ng’alabika ng’ayagalira ddala omusango okugussa ku ffe. Kyokka olwokuba si ffe twaziga ensolo ate nga tetwalina mafumu mu kuyigga nga baatugwikiriza mu kkubo, ebyo bye byatuwonya. Era abasajja bali ababiri be twali nabo, baatuwolereza nnyo. Ebigambo ebituufu ndowooza byali bwe biti: Omwana w’Omwami omu ye yaziga engabi, mpozzi n’ateesa n’omwami oli agambe nti y’agizize tuleme kwekengera. Anti oluvannyuma Meeya yatutegeeza nti omusajja oyo mu ttuntu ku olwo yatutumira omuntu tugende naye wamu n’amafumu gaffe tugende naye mu kuyigga. Naye omuntu gwe yatuma n’asanga nga tetuliiwo. Ogwo gwali mukisa gwaffe kubanga tetwandiremye kugenda naye kubanga bulijjo twayigganga naye. Kyokka yakola bubi okutulyamu olukwe era yasaanira okufa obubi.

Twagenda okutuuka ku kizigo nga baategese dda engeri gye bananzitamu, kye baava bansaba nsaggule ku kizigo banneewubize okwo banfumite. Era nga babadde balemeddwa okunzitira ku kizigo ne bateekateeka okunzita nga tuddayo. Baddira abaali ab’okundasa ne babakweka mu kibira ne babategeeza nga bwe banaabatemyako nga bayitawo, bano abateeze balyoke banzite. Ndowooza baabagamba nti nze nali nja okukomererayo, omufu kye yava anjagattajagatta nsigale emabega. Mpozzi nno abassi bwe baalaba omwana w’Omwami ng’agenda atinattina ate ng’emabega tebawulirayo ajja mulala, ne balowooza nti ate banaamulinda kutuuka mitala? Nga bagamuyiira ng’afa, anti gy’otega amaggwa, bwe bakugoba gye bakulaza.’
   
Nnejjusa obufumita kutta Mbego

OLUSAMBAGGERE luno lwanyiiza nnyo Mbego era nze kata ndugulemu obulamu, kubanga bwe namusamba ne nzungamu nga sinnatereera bulungi ye n’asindika effumu n’obuswandi obw’ekitalo ne lijja nga linyooka liriko n’obujja bwegaaya.

Nalyekangira kumpi nnyo ne likwata ekkundi ly’engabo yange ne liyitamu ne linsusa olususu lw’olubuto ne ligenda nalwo! Naye singa engabo nali sigikwatidde bbali nga mmusamba, awo bandiggyeewo kugenda kumalirako ttaka.

Mbego n’agamba nti, “obwedda nkutaatira kazzi nneeyolera mpiri mu bunnya!” Ne ndaba ng’asunguwalidde ddala era ne mmanya nti kaakano “Nze oba ye!”

Ebyaddirira mmanyiiko bitono, anti twayokyagana mafumu gokka, oluusi nga nze mmukwasa oluusi nga ye era mu kiseera kino olutalo ne luba lwa kabi nnyo nga tewali kutemya wadde okumira eddusu. Omulundi gumu, engabo ya Mbego yagwa nga ngikubye naye oba lwaki saamuzisa mu kiseera kino ne kaakano simanyi era ndowooza sirimanya.

Ddaaki, omulangirizi n’afuuwa ekkondeere tumire ku ddusu, naye nze nga sifaayo oba nga tuwummula oba tetuwummulamu mmaze okuguba era nga ntaamye; nga kye njagala kwe kulwana oba banzita banzite olutalo luggwe. Anti nga nzenna njebye era nzenna ng’omusaayi gumbunye.

Waaliwo ddala mu kaseera akamu we nayagalira okuleka Mbego anfumite era nali ddala ku njegooyego ya kukikola naye ate awo we baafuuyira ekkondeere tuwummule. Nga tuwummuddeko, Mikolo n’agezaako okunvubiriza ng’addira ekiwero n’annyika mu mazzi n’ampisaako.

Eŋŋombe teyalwa n’etokota tuddiŋŋane ne mpulira ng’Omwami yeesooza era nga bw’akontola. Abasajja abajja ne Mbego ne boogera ebigambo bye saategeera naye oluvannyuma Muyodi bye yanjogereramu ne mbimanya. Bye bino, “Andu akiti amoga! Adudu amale pyo! Ekinyobba jje lakatu ddu!”

Mba nsituka akaana ne kajja n’olwendo ne kaŋŋamba nti, “Muyodi akukuutidde weekuume nnyo era Mbego tomuggyaako maaso, anti era mu lulwana luno malira amagezi gonna mu kwewoma amafumu ga Mbego.” Bw’atyo n’amaliriza ne bino nti, “Banne bamuvumye nti, oli muntu ki ggwe! Okulemwa akaana ako akato! Ye Omwami onoddayo n’omutunula mu maaso! Nti nno bw’akulema luno nga tokyatukulembera.”

Bwe namala okubiwuliriza ne ŋŋamba akaana nti, “Ddayo omugambe Muyodi, nti awandigudde oluwanga lwange we waneerindiggula olwa Muyodi.” Naye mba nsituka ne ngwa, Mbego kwe kwogera mu ddoboozi ekkangufu nti, “Situkawo eri ne nkumaliriza, ensega nange zinneeyanzeeko nga bannange bwe zibeeyanzizza.

Nange muli ne mpulira ng’obwange busigazza kaseera buseera anti ng’engabo sikyagiyinza ezitowa nga luyijja, omukono gwange ogwa ddyo guzingaladdemu ate nno gattako ebiwundu n’omusaayi gwe nali njoobaanye wamma ggwe nga tewali njawulo na kiyoyo ate nga nnyenja buyenzi.

Mu kaseera kano omusajja omu we yasitukira n’asaba Omwami omuzannyo guggwe, ng’awa ensonga ze nti, emirundi egya bulijjo esatu egizannyibwa giweddeyo era n’ekyokubiri engabo yange yali ewumugguddwa nnyo nga tekyewomekamu. Omwami okwandibadde okwanukula yanyeenya mutwe era n’alaga olunwe ku ngabo ezaali awo ku bbali.

Omusajja ono Nkuyegetetyassabo yali muzira nnyo yali yaakalwana mu ntalo kkumi ng’akomawo newankubadde mu lumu eriiso teryalutonda

Wa ebikolwa ebiri mu mboozi eno, ebiraga ng’omuzannyo guno kaali akatego ak’okumutemula.

MPOZZI nno Omwami kye yava tamuyita kujja kulwana mu kifo kyange nga bwe yandikoze singa eyayogera yali mulala gw’anyoomerera.

Tebaalwa ne bandeetera emu ku ngabo ezaali awo, naye bwe nagikwatamu ng’ezitowa bulala, kwe kusaba eyange entono. Bwe baagireeta, abantu bangi abaali ku ludda lwange essuubi lye baali banninamu ne libakendeeramu. Abamu ne baleekaana nti, “Kozesa eri ennene, eyo bajja kugifumita omulundi gumu nga yawumugguse dda.”

Ate baagenda okulaba ga nkutte akafumu kange akatono, wamma ggwe ne baterebukira ddala mu nze
era bangi ne bampeerayo mu birowoozo byabwe eri Mbego nti, “ako akafumu katono nnyo tekayinza kuyita mu ngabo ya musajja oli.”

Abaali bakyanninamu akasuubi baalaba ng’ate n’akafumu nkakwasizza kkono, n’eryabwe ne liseebengerera, okuggyako Muyodi ne Mirembe abaatabagana mu birowoozo wamu nange, era abaamanya ekyankozesa ekyo.

Bwe nalaba omukono ogwa ddyo gusannyaladde ne mmanya nga tegujja kusobola ngabo nnene kugizunza mangu ate nga nail nneetaaga okuzunza effumu amangu nkooyese omulabe wange. Sso nno ate nga kkono wange bantu butamanya nga y’asinga ddyo amaanyi.

Omuzannyo ne gutojjera, ng’abaali ku ludda lwange bazirise, ab’oku ludda olulala bo nga beesunga obuwanguzi kazzi nno nga bagaya kyezinze.

Nga twakatandika, Mbego n’anfumita nnyo ekibegabega era abantu bangi ne bagamba nti, “Ekyo si kye twakugambye?” Naye mu kaseera akaddirira, Mbego n’asigala kwewoma bwewomi. Bwe nagiranga ne mba ng’amufumita omukono ogwa ddyo ate amangu ennyo ne mmusokya amagulu, ng’engabo akyagissa etangire effumu ne mba ng’amufumita omutwe oba omukono ogwa ddyo.

Yabanga akyewoma ne mmudda emabega, bwatyo n’abeera mu kwewoma n’okwebulungulula buli kaseera. Yalaba atandika okukoowa n’aleeta n’agomu buto gonna ammalirize nga tegannamwabulira; kye yava agezaako okunsamba, naye bwe namwewoma n’atagala, anti, amazina amayigirire’.
Saalwa ne mmusindikira akajogolo nga kanyooka n’okunyooka. Bwe yakakuba n’atagala ne mmutega n’asinzittuka ng’adda ekyennyumannyuma eyo gye yalinnyira mu kitembejja ky’omusaayi n’aseerera n’agwa bugazi.

Saalwa ne mmusemberera era abantu bonna ne balowooza nti nzija kumukazakkaliza awo anti nga Luwanga amungabudde. Baalaba nnyimiridde mmutunuulira okulaba bwe yeeriga ng’asituka addawo, ne bannyamira nti “Oli musiru? Mufumitire awo ng’akyali wansi. Bw’anaasituka n’amala akutta gunaaba gukusinze!”

Abamu ne beesooza nti, “Mukaleke bakatte anti kawuttufu! Ko keesiga ki? Sso nga nze bwe nalaba Mbego ali wansi avuya, nga nja kulabika ng’omutemu okutta omuntu atakyeyinza. Mmanyi ng’ekikolwa kino kyali ddala kya busiru era kata nkisasulire obulamu bwange; naye ku nkomerero kyangulira ekitiibwa ate ne kibumba obuti mu mitima gy’abalabe bange. Abalala ne boogera na lwatu nti, “Oyo omwana si muntu era tali yekka!”

Nga bwe gwali, abantu bwe baayogera ebyo nze ne mmwenya bumwenya, Mbego bw’aba asituka n’andaba, kwe kumbuuza nti, “Nze ssebo nze gw’osekerera? Ka nno nzikukalize ku mumwa.”

Ne ndabira ddala ng’omusaayi gumutisse ku mutwe era ng’olutalo alutamidde bwenge. Nalaba biri bityo nange kwe kugaddako ne nkwata effumu lyange eddene ne bukalambira.

Mbego mmufumita n’ava mu budde

KYAZIRA kutereera, n’asindika amafumu mukaaga nga ga kumukumu gonna ne ngakuba, gonna nno nga gajjira mu kifuba wakati! N’awulugumya limu ng’ayagala linkwante obwenyi, ne mpanika engabo ate ne nfukamira.

Effumu kwe kuyita mu kakundi k’akagabo kange ne ligenda nga lyesooza nti, “Omponye nno!” Amafumu ne gatandika okujjira okumukumu mangi ne ngakuba amalala ne gankwata emikono amalala magulu ne mmanya nga “Kamaanya” asunguwadde anti nga takyagera bulungi.

Kino ne kimpa buggya amaanyi era mbu mu kaseera kano Muyodi we yayogerera nti “Entamu ebadde efumba eya Mbego bavuunike!”

Ebyo nno Mirembe ye yabimbuulira. Effumu erimu lyankwata ekisambi ne ntalanguka naye ne nfukamira bufukamizi ne sigwa. Ne nnwana bwezingirire buli ffumu lye nasindikanga abEemikwano ne baamira nti, “Bwotyo ssebo, bwotyo gendera awo ggwe, toggya okwo mpolampola ayiisa obusera.”

Mbego yalaba mmufuukidde lukokobe, n’asindika effumu lye eryali ery’okunzisa era eryali effumu lye, lye yakanyuga omulundi ogw’enkomerero mu nsi. Bwe lyajja ne ndyekangira kumpi, ne ndikuba mawanvuwanvu ne limpita ku mutwe ne litumbiira mu bbanga mbu ne lyetonnya emabega wange.

Bwatyo Mbego olw’eryanyi lye yakozesa ng’akasuka effumu, n’atagala era nange bwe nalikuba ne ntagala naye nze ne mmusooka okutereera, kye nava nnuma n’ogwengulu ne nkoowoola n’agomu buto gonna; ne mmusindikira effumu ne likwata ekkundi ly’engabo ye ne ndaba nga kuvaako ensasi ne ligiyitamu ng’akambe bwe kayita mu muzigo ne limugatta ebisambi byombi awo kumpi ne bbunwe; n’alyoka yeerindiggula ennume y’ekigwo ng’ente gye basibye amagulu gonna be ddu-u-u!

Bwe yagwa, n’agwa ku gutundutundu gw’effumu erimu ku mafumu agaali gamenyese mu lutalo nga gwesimbye mu ttaka , obwogi nga bwe butunudde waggulu ne gumuyitamu mu mbiriizi ne gukomekkereza omulimu gwe natandika!

Nali wa mukisa bukisa nze obutasooka kukasuka ffumu n’amaanyi gange gonna kubanga ddala mba kusooka Mbego kwemalamu, nkakasa nga nze sandirutonze. Ebyaddirira sibijjukira, wabula nzijukira kino kyokka nti, Mbego bwe yagwa ne ndaba ng’ensi yonna yeetooloola ne mpulira ng’agwa awo nno we nakoma okutegeera.

Bino byannyumirizibwa Mikolo: bwe nagwa, Mikolo, Muyodi n’abantu abalala Muyodi be yali alagaanyizza ne bansibako akasaakaate k’abantu era mu kawuniikiriro akaddirira, ne banneebagajja nga batya nti sikulwa nga mikwano gya Mbego mu busungu bwabwe bankolako akabi. Abantu bonna okugenda okuwawamuka n’okutegeera ddala ekibaddewo bajje bantunuleko, nga tebakyandaba. Banne ba Mbego tebaagoberera era Mikolo yaŋŋamba nti singa baagoberera, yabuusabuusa oba nga waaliwo ku bo eyandizzeeyo. Nti kubanga Muyodi yagendanga ‘ataliza’ emabega waffe, obubinja bw’abasajja be abaagayiga obulungi nga nze banneetisse nti nno obubinja obwo bwasigalanga bukwebedde balyoke babwetonnyemu nga tebamanyi! Ate bakuŋŋunsa tebeeramba kkubo baagendanga basalinkiriza mu nsuku era n’ewaffe tebandazaayo wabula bantwala wa Muyodi gye natuusibwa ng’obudde buzimeera.

Abasajja ne bambugumiza amazzi ne bannyiga ebiwundu era ne bannaazaako omusaayi. Muka Muyodi n’asiiga eddagala eryo ate nga teribembulwa kunyiga kiwundu wabula buli awabembuka nga nkovu. Bannnyumiza nti eddagala eryo okusooka baatya okulimmetta olw’okuluma kwalyo nti naye eyabagumya ye Muyodi ne mukaziwe Kulwawo abaategeeza abasajja abaali balitidde nti mu mbeera gye nalimu nali sisobola kuwulira bulumi.


Pyati ampa Mirembe mmuwase ng’akasiimo

EBYO olwaggwa ne tunyegera nga tulaga ku mbuga era nga tukooka nnyo anti nga n’emigaabe gigenda gigwa.

Okugenda okutuuka ku mbuga ng’omuntu ali awo! Nze bannange be baagenda bansitudde, baagaanira ddala omulabe okunkwatako.

Nga tutuuse mu mbuga , Pyati n’awamatuka gye yali yeekukumye. Bwe yalaba ebintu ebikomezeddwaawo n’abantu, n’abuuza akoze ekyo.

Munnaffe omu gwe twalonda okuwoza olutabaalo n’aluwoza era bwe yali asirisa n’ansongako olunwe nga bw’agamba nti, ‘Obuwanguzi bwaffe bwonna businzidde ku mugabe waffe ono, omuzira, omutegesi era omukkaanya.

Singa tabadde ye, tetwandiwangudde.
Awo abantu bonna ne bankubira emizira nga bwe bammimbijja, anti olwo bansitudde era ne Mirembe nga kwe ntadde omutwe nga ngalamidde naye bamusituliddeko bagenda beetooloola embuga nti, ‘Mumulabe omuzira ne munne.’

Nakanda kubategeeza nga bwe sisaanidde kitiibwa ekyo kubanga waaliwo bangi abaakola eby’obuzira okunsinga nga tebawulira bongera kusaakaanya. Bwentyo nga mmala gasirika anti kasita bifuuyibwako empewo nga tebikyazzeeyo.

Awo Omwami n’ayimirira ku katuuti wakati mu mbuga era ng’amaze okuwenya ku bantu bonna basirike, n’asitula eddoboozi lye n’agamba nti, ‘Ffenna abali wano kaakati , twegasse wamu okwebaza Bawankula.

Ekikolwa eky’obuzira kino kye balaze leero, tekibangawo mu byafaayo byaffe era abajjwa ne bazzukulu baffe banaakijjukiranga, naffe ab’omulembe guno kirituweesanga ekitiibwa. Kantuuke ku Mugabe w’eggye lino.

Mwenna mumanyi bw’atali muzaaliranwa wa mu nsi muno naye kasookedde ajja, byonna by’akoze bya buzira byereere era n’olugero lwaffe lutuukiridde bulungi ku ye nti, ‘Eteefe…’

PYATI AMPA MUWALAWE

Omuntu omuzira ono, asaana okwebazibwa era nze okwandibadde nga okwebaza kwange kaakano newankubadde nja kwongera okumwebaza oluvannyuma, mmuwa era mmukkiriza okuwasa muwala wange Mirembe gwe ndowooza nti ajja kumusanyusa.

Embaga eribaawo ng’assuuse era Bawankula abalala bonna buli omu nja kumuwa omuwala era n’abo abafiiriddwa batabani baabwe buli omu nja kumuwa endobolo. Awo abantu bonna ne boogerera waggulu nti, ‘Oyogedde ssebo.’

   
Komunaku atunyumiza engeri gye baabawambamu

KOMUNAKU ng’amaze okwa Ndodooti ekiseera, yawuliranga bba ne banne nga bawera enkolokooto nga bwe bagenda okwekokoolera nnamunkukumbo w’ebintu lwe balirumba Pyati.

Bba yali musajja muzira era nga banne bamwesiga nga buvune kyokka ng’atyoboola era ng’anaanuula nnyo eggye lya Buwankula buli lwe yalyogerangako anti ng’aliyita ggye lya bwacaaka oba emiyeeye era nti olulitukubamu effumu nga tunyaama. Nti nno newankubadde nga bino byonna yabiwuliranga naye teyalootako n’olumu nti ffe twenyigidde mu ggye lya Pyati. Ye ng’ayinza kusuubira atya nti n’eyo ku nkuzi y’ensi tutuukayo!

Olunaku lwe yazaawukirako yalulombojja bw’ati: ‘Olweggulo tumale tunyagibwe enkeera, omusajja nnyinimu yalumala mu kafubo ne banne. Bwe yadda, n’atutegeeza nga yeekabye ng’enkya eggye lyabwe bwe lijja okwoleka mu maaso g’Omwami alabe oba nga lirifufuggaza amakunsu ga Pyati singa geekolera ne ganaawuuka ewaabo waago okumwekongolobojjako!

Yayogeranga ebyo, ssempala nga tamanyi nti Walumbe ali ku luggi amuliimisa! Mu ttumbi nnyinimu yawamatuka mu nju n’agenda.

Obudde olwakya nga tugenda kukunsa mmimbi. Akasana bwe kaakaza nga n’emmimbi ziweze, ne tugenda eri bannaffe tukkirire mu kibira okutyaba enku nga bwe twali tulagaanye, omanyi twagendanga guduula tuleme okutya ennyo. Luno oba yali kinaawuuzi ki eyatuwujja? Anti kumpi ffenna mu kyalo kata tuggweeyo! Munnange nga tuserengeta mu kibira nga tutyaba nku.

Tuba tuli eyo tukolongola ensekese nga n’obulali buyita kuli, kwe kuwulira olwogoolo n’akavuvuŋŋano. Twetwabissaako nnyo mwoyo era nga tulowooza nti tuli wala n’ekkubo. Naye tugenda okuwulira nga waliwo abakuba akaayo okumpi ddala we twali. Twatandika okumaga n’okupapa era wano munnaffe omu we yayiiyiriza amagezi ag’okwekweka.

Kyazira kukiggya mu kamwa, nga tusensera mu lukakaba lwa luzibaziba nga twekukuma, wamu kipooli. Tuba tuli awo, tulowooza nti nga bwe twekukumye awakwafu aweekusifu, ennyago n’engabo binaatutaliza kuba okusinziira ku kukaaba kw’abafumite, okugobongotana kw’engabo n’amafumu, twali tutegedde nga bwagayeggaye dda.

Mu kiseera kino, bwakeddempulira kwe kwekomerera mu gga ly’omuwala eyali alwadde ensalika ng’agitaddeko eddagala, asibizzaawo enjoka z’ekyayi ajja apipira nnyini naye abundaale we tuli. Bwe yatema omulanga nti, ‘Nfudde nnyabo!’ Nagenda okulaba ng’olukakaba lwonna luyuuguuma, okutemya nti emirundi ebiri ng’abatabaazi abaali bajoobanye ensanke baatukukunuddeyo dda tuli banyage!

 

 Ebisigadde nkubira ku 256-712417709   oba 256-706311881  / 256750619907 oba ku facebook www.facebook.com/kajubi www.fb.com/kajubi ayagala ku ngero zi kabuladda nazo kweziri noonya link ku page eno waggulu oba leka comment awo wansi nkubuulire gy'oyinza okugula akatabo kano .Mbadde Kajubi James Omuseenene .Nkaweerezza abaana abakola oluganda ku A'level UACE wamu n'abanyumirwa oluganda

    (abaagala ebibuuzo ebikwatagana n'akatabo kano mbirina abyagala abinsabe njakubimuwa oba okubyongera wano)

     AWANGAALE MAASOMOOGI

HTML Comment Box is loading comments...
Tuyige okuwandiikayo ku butabo