ENGERO ENSONGE N'EBISOKO MU LUGANDA
ENGERO ENSONGE mu LUGANDA
Enfa Ya Matyansi Butyampa (Original Version) Ekitontome
ZINUNULA OMUNAKU *By E.N.K .Kawere*
KAJUBI JAMES INVITES YOU HERE
NKETTA MU BIZINGA by ENK KAWERE
TV A-Z Schematics
GUEST BOOK /Ekitabo ky'abagenyi
Photo 3
- Abagagga baagalana enviiri zirekerera ebisige ne zigenda ku birevu
- Abaganda bali mu kulya nga eno Katonga ajjula
- Abaganda mwetooloola miyagi nti tuloga kafumbe
- Abaganda nkoba za mbogo,zeggya zokka mu bunnya
- Abaganda nswa zeebikka kungulu
- Abakade kabatabaale nga talina wuwe
- Abaakisimba beebaakiwomesa
- Abakopi muwemba bw'ogusaayira kudda mulala
- Abanaku bamanyagana empologoma bw'erwala ensiri y'erumika
- Afudde kituyu ng'amenvu
- Afuuye eŋŋombe nga talagaanye na bayizzi
- Agalabagana gatyaŋŋana nga Mbajja ne Mugema
- Agali awamu g'egaluma enyama owamalibu akiina wa ngereka
- Agali awamu ge galuma ennyama ow'amalibu akiina wa ngereka
- Agamyuka omutezi, n'akasolo
- Aganaanyuma tegalinda ŋŋoma
- Agatawulira mukama waago gabikka ntembo
- Ageerwanyalwanya gaba gaagala nnyini nnyama(agabwa)
- Agummye n'aguwanga': agenda lw'eggulo"
- Ak'ezimbira tekaba kato
- Akaabidde mu babe ng'alabye bamuwa
- Akabwa keweeyolera k'ekakuluma enteega
- Akaliba akendo okalabira ku mukonda
- Akanaafa tekawulira ŋŋombe
- Akasolo tekannafa, nti opmukira gwa jjembe lyange?
- Akasukka omumiro tekadda
- Akatabagano katta omutezi n'omwoki
- Akatali kabbe, eggumba osuula mu mulyango
- Akeezimbira tekaba kato
- Akuba ebiwojjolo teyeeganya mpumbu.
- Akuba owuwe akuba awumba engalo
- Akuliira omuwemba akunywesa nkenku
- Akuliira omuwemba akunywesagwa nkenku
- Akutwala ekiro omusiima bukedde
- Akuwaliriza okulinnya, bw'ogwa akuyita kadduwannema
- Akwagala n'atakwagala ,tebuziba nga tewannabula akwogerako
- Aliggala n'aliggula bonna obusungu benkanya (ekkubo).
- Amagezi amaggye ku bugenyi gaakubya Wakayima omutwe
- Amagezi gakuweebwa munno empogola weeyatikira woosusira
- Amala gateeba bw'ayigga avaayo bukumbu
- Amalala gakulemberwa kigwo
- Akajja obunaku keemanya, ejjanzi teribuuka na nzige
- Amamese amangi tegeesimira bunya
- Amaziga g'ente ssanyu ly'amalembo
- An'aggula omunaku amatu ,wano waliwo kitaawo ne nnyoko
- An'akuvuma obubi akuvimira ku ndwadde
- Anaagwagwawala asooka kutunda bibye
- Anaakuboolera mu lumbe nti ggwe wa maanyi
- Anaakugoba ku nswa akugamba nti tolya omulalu
- Anaggula omunaku amatu nti wano waliwo kitaawo ne nnyoko?
- Anawangaaza obuliirize omunwe alya gumu
- Asamirira amaddu, ayigga mbogo
- Aseka ekimwegeru: engalabi ky'eseka n'emiti mu kamwa"
- Asookawo ye mukulu akakoowekoowe kakulira ekirevu
- Ataakole n'okulya t'aliire Ataliiwo tagwirwa muti
- Atakulekera n'awe tomulekera, ennyanja ekutta omira
- Atalukutambulire entanda akusibira y'amenvu
- Atalutambudde nti baziriko bazirya
- Atamanyi kusaaga emmese bw'emusaba ekigwo aleeta muggo.
- Atamanyi mpewo y'emagombe y'amma omufu olubugo
- Atambula n'emmandwa y'amanya ky'erya
- Atamusuza y'amutenda eggonjebwa.
- Atamuzadde amutikka jjinja
- Atannayitayita y'atenda nyina okufumba
- Atasaasira mwavu ageya mugeye
- Atasaba taweebwa enkoko oluba okunywa amazzi ng'eralamira waggulu"
- Atolotoma nga ssegwanga anywede amanabemu
- Atta ekizigo asooba
- Atudde entitibbwa kabootongo z'atuula mu mumwa.
- Atunula kalyolyongo ng'enkoko ebiika awali embwa
- Awaakula ennume, tewaakula emu
- Awali omwenge tewabula luyoogaano
- Ayagala omwavu y'amunyiriza ,kyamisana ku lukokola
- Ayeeyereza omunafu y'amulwanya
- Ayogera kaati ng'omuyizzi amaze okutega
- Baboola mwavu
- Bakakubye mu nkaatuufu kwongera kumwa
- Bakusaggira okolola akobugoba k'oyagala
- Bakusaggira okolola, ey'obugoba gyoyala?
- Bakusinga enumika nti laba ebijja bituutira
- Basajja mivule, giwaatula negiggumiza
- Basammula ekkere ng'amazzi banywa.
- Batemye etto baliranga munwe
- Batwaya omugogo alaga gumu
- Bbugu bbugu ssi muliro essanja teriyiisa mmere nga si muganzi
- Beera mugumu ng'asula wansi
- Bikongoolo tebitta nnume
- Bukadde magezi takubuulira ky'amukaddiya
- Buswagu oswaguza ne gw'olya naye
- Bw'eyinda ssibw'etonya
- Bw'ogenda ebulya mbwa olya mbwa
- Bw'ondaba omala ,yettira obuko
- Bw'onyigiriza enyo enyindo ogireeta omusaayi
- Bw'osika ekitajja, ddiba lya nkoko mu ngalo
- Bw'ottottola eby'ekyalo ,bw'olwala tofuna akulumika.
- Bwebaba babuulirira omwana wa boobwo, nga gwe ow'omunaku okutu okunkumula
- Bwendi bwendi y'atunda abaana.
- Bwogoba musajja munno olekamu ezinadda
- Ebibi bikirana, okwagala nyoko oyagala nyazaala wo
- Ebikolimo by'enkoko tebitta kamunye
- Ebinywera by'ebigenda omukazi yasiba embwa ya bba ku mugugu
- Ebita bisigale ,nga n'enkaaga alina ey'okubizzaayo ku buko
- Ebiyita ekiro ne Kangaawo yetikka
- Eby'okuwa bifa obusa abanaawa basuuza bbaabwe
- Ow'olugambo nnamunnungu w'atuula w'aleka amaggwa"Anti buli w'alaga ng'atandika kuseetula (lugambo)
- Eby'omunju tebitottolwa
- Eddalu ekkazi likongooza bba waalyo
- Eddiba ly'engo teriweeka mwana, nti nguli maama yaliweesa nguli baaba?
- Ekibi kikusanga mumwo
- Ekijj'omanyi kinyaga bitono
- Ekiriggwa jjo tekikutunuza ng'alira
- Ekirya omunaku tekimumalawo
- Ekiriisa enkoko omuddo budde kuziba
- Ekiryo ekinaakuwonya kikusooka bugujju
- Ekita ekitava ku ssengejjero kifuuka wa nkindo
- Ekitaggwawo kikuwa engaba
- Ekitaliibwa tekirema kwala ekikere kyayaza ennyama ku mutwe.
- Ekiteezaala tekyala
- Ekiwomereze kizaala enkenku
- Ekiyiira omunaku kigwa mu vvu
- Ekiyita waggulu otega wansi,empungu terya mu bire
- Ekkubo litemwa mukulu nga tebannabagoba
- Embaga enyuma kiro, bwatagenda kulya agenda kulwana.
- Embaga yamangu n'owettima aleeta
- Embooge bw'ekona ,enjagi totegana kusumulula.
- Embuulirire tefa yonna
- Amaanyi tegalya, ssinga embazzi y'ewata
- Embwa enjizzi ezaala enkolya
- Embwayange tebba ng'eyise ku gwa lwataba
- Empale ya lucoolo ebeera emu y'ekyala y'ekola emirimu
- Emyungu emiwagiikirize: gyasa entamu"
- Endiga bw'ekootakoota,emanyi nga waggulu wala
- Engabi eyeewala, y'ekaluba ennyama
- Enjala eruma omuwuulu,y'etuumisa nnyinimu erinnya,nti,"Byakagambwa" emmere yaffe eyasuze tunaagirya ddi?
- Enkalubo ekira amaluma
- Enkanula maaso yagoba lubende mu nju ne lugenda lubeera mu nsiko
- Enkasuka ennungi y'ezza omusu
- Enkobe ento eseka ekibira nga kiggya
- Enkungu-lutale etegebwa mayinja
- Enkyukira omugenyi gy'akuba ku lumonde
- Ennongoosereza emasula omutego
- Ennyumba y'ewaffe ngyeyabyamu ,bwabeera yeesiba,ng'adda mu kisenge
- Ensenza ennafu etikka mukama waayo omugugu
- Ensi egula mirambo nga temuli gugwo
- Ensi okufa nakasugga okufuuka enjagi,oba Nakati okufuuka entula
- Ensibambi edibya mutere
- Ensimbi emu kanyonyi, bw'otokatega tokwasa
- Ensimbi ze nfuna zimpita mu ngalo ,tatungiramu maliba ,ne zirema kuyitamu
- Ensimbo efuna ginnaayo
- Ensowera ekwagala y'ekugwa ku bbwa
- Entakyaluka waMuwonge e Jjalamba.
- Envumbulirwa eriibwa munaku
- Enyonyi enkeeze yeerya olusiring'anyi
- Eriso ly'omukulu, awaddugala w'ewalaba
- Erwanira ebuko ekuuka ejjembe
- Eryokanga n'etonya netulaba ensiisira bwezenkanya emyoyo
- Essanyu limulinga ly'amwoki wa gonja
- Ewaffe tutudde kitebe ,enjala ky'etuula mu lubuto
- Eyawukana ku mugendo efuuka kaasa
- Eyeemanyi amalwarira tatega ŋŋaali
- Eyetuukidde tanywa matabangufu
- Eyeeyambudde tatya gannyogoga.
- Eŋŋombe y'ekikaayi tekulagaanyisa munno
- Galimasane ente enzirugavu okuvaamu amata ameeru
- Ggufa kkalu bbula bulumo
- Gunsinze aliwa bitono
- Gutta engo negutasubwa (omuyiggo)
- Guwedde mirembe akiina muyiisa
- Gw'omenyera mu nkejje ewuwe alya luti
- Gw'otonnakaddiya toguyita gugwo
- Gw'owonya eggere y'alikusambya
- K'eŋŋoma: kamanywa mubambi"(akantu = charm)
- Kabaka tamanyi birungi singa ekitoogo ky'afuusa olunyago
- Kagenderere ng'omukadde akogga
- Kaliba kasajja akuliisa engo
- Kalonda ng'omusiri gw'omunafu
- Kamunye ow'empaka akubya namnnyinimu enduulu
- Kamwakabi kassa siroganga
- Kasajja katono okanyomera mitala w'amugga
- Kasobeza ng'ennebaza y'omwavu bw'omuwa nti onnanzeeki?
- Katonda gwey'awadde, n'ennume ezaala
- Kigwanga mmumbwa nga wali ogiwuliddeko
- Kimmanje okuta ensuwa nga lujjo
- Kimpoowooze ng'omukkuto gwa menvu
- Kimunkumunku ng'omukira gw'endiga omuliire ku bijanjaalo
- Kimwa kya mugole ,kijja ne siirye kimala muwumbo
- Kimwa-kitoole ng'omusajja alya ebbumba oba ng'omukazi alya emmamba
- Kino kinyeenya magi ng'enkoko ebiika endege
- Kiseke kya munyumya kijjula malusu
- Kiso kyambuzi, kireka omussi ne kitunuulira omubaazi
- Kitta akimanyidde, enyanja etta muvubi
- Kola ng'omuddu oly'engomwami
- Ku lyenvu kwendittira ensole.
- Ky'osimba onaanya ky'olyako ettooke
- Kyakayiga bw'akuba engalabi: tayimbirira"
- Kyemwayagalizanga embazzi, kibuyaga asudde
- Linda buwere akuzimbiriza endwadde (obulumi)
- Linda buwere yawanguza Buvuma
- Linda kiggweeyo, afumita mukira
- Lubaale mbeera nga n'embiro kw'otadde
- Lubwa lukovvu lulumirira kutta
- Lubwa lukovvu olunyomera mu kyoto ,bwerutuuka ku nsiko nga luwerennemba
- Lugoma lukadde: eyalumanyako y'aluggyako endere"
- Lugumira enjala era ng'aliko k'asuddemu
- Lukujja webajjula ne lukutwala we basaaniika (olubwa)
- Lumbe Musolo webakukwatira w'oguweera
- Lutta akuwagira nga lukumaze amaanyi
- Lutta embwa ,mu lw'ente batuula kitebe
- Luwanga lwa mbwa balunyoomera mu kyoto
- Luyungudde emmandwa ezziga (olumbe)
- Maddu ga ddenge ofuuwa bw'okomba
- Madongo asanyuse nga ku musu kw'alaba
- Mafuta ga nte gava mu nte gadda mu ddiba
- Maluulu ga kyalo tegakusuuza bbuzi lyo.
- Manyira ku mwoyo ng'endeku ey'obulago
- Masavu ga ŋŋaanga gasaala gakka kibira
- Mazzi masabe tegamala nnyonta
- Mbwa nnyingi ziwabya omusu
- Mboneredde tata muze oba ng'emikono giri mabega.
- Mbuulira gw'oyita naye nkubuulire empisa zo
- Mitala mirulumi gisimbibwa na mmumbwa.
- Mpaawo atalikaaba
- Mujagujagu nga kabwa ,tekannazibula nga kasitama
- Mukulane ng'emmese esula ew'omunafu
- mulimu Omwavu aliyisa bulago
- Mulya kiro buziba alaba
- mulwadde asosola y'agezza abalamu
- Muyizzi akumma n'akunyumiza eŋŋombe
- Muyizzi tafa, kasolo ke kafa
- Mwaka gwa nswa ,bagutendera ku mulala
- N'azina obulungi ava mu ddiiro
- Nantabuulirirwa yasaabala gwa bbumba
- Nantabwaza akuba mu ly'enkejje obusomyo.
- Nantalabikalabika ng'ezziga ly'empologoma
- Nanyini mufu y'akwata awawunya
- Ndikugula akunkumula lutembe.
- Nganda nnyingi ow'essimba akubula
- Nku nnyingi zitta mutyabi enziku etta mwenzi.
- Nkulemberaamu y'akuleega entumbwe
- Nkutabadde omunafu atabaala omulima
- Nkwatanyekwatanye Kalambi ne Bbira
- Nkwatiraako tebufuuka bumbowa
- Nkwesambye: Nnasswi mugalabi"
- Nnaalinnya omukazi talinnya nnyumba n'egwa munyale.
- Nnaasiwa mu kange asiwa mu kabukuku
- Nnagunywanga ne nsulayo nga gy'anyweredde gy'akwanye
- Nnaku za mbwa n'atayola akuba
- Nnakyeyobekedde gw'ayiisa gwe gumusambya
- Nnampulirazzibi, bamugamba balo embogo yamusse nti bwatyo bw'atera okuzifumita
- Nnamunswa alya ku nswa ze
- Nnamwabukirabusa si muyiggo
- Nneezikookolima gaali magi
- Nsiba byange amala ebyayi mu lusuku
- Nyama ntono okaayana ekuli mu nkwawa
- Nyinimu w'atali ebikere bitemba enju
- Obugonvu bw'olujegere ge maanyi g'alwo
- Obulangira bw'omukopi kwekorera
- Obulwadde bukula kiro y'aziika omuliro
- Obumanyi bukira obuzira
- Oguliko engalabi tegunywebwa atudde wamu
- Ogutateganya teguzza nvuma
- Okalya dda kadda dda ,envunyu ogiriira mu katiko n'ekusanga mu ttaka
- Okalya dda kadda dda, ejjobyo liddira mu mutwe
- Okekkera ng'Omunnabuddu nti Kabaka yantuma lwokyo;nti olwokya Kabaka baluggya Buddu?
- Okekkera ng'Omunyoro afa nti omwoyo gundi ku mbuga
- Okekkera ng'omusumba we nkoko nti ez'ewange ziwalalira emiyagi nti ggwe nnannyinizo owalalira mivule
- Okekkera nga muk'omugoma: nti ow'ewange leero agireese n'amayembe gaayo"
- Okekkera nga Munnabusiro asima balugu nti bakime akambe tusale ensigo nti abeeka banaasala nnuuni?
- Okubuuza ssi kuwaaba
- Okuggwa ekkuuka omusezi lyaggwa mu lutabaalo
- Okuggya si kuzzaayo ,kitaawo bw'afa tozzaawo mulala
- Okuggyawo ekitayiro ng'owobusa azadde ow'obuwala
- Okugwa ettente ,ng'omukulu omukwate ku kutu
- Okujaganya ng'ezzaana eddekere enju
- Okukembakemba ,ng'atwala emyali
- Okukirwako si kukimanya ,wabisige agenda okumanya ng'eby'enviiri babinyaze dda
- Okukinagguka ng'azaala akuza nti owange saamunywerako ddagala
- Okukizza munda ,ng'akaabira eddiba ly'enjobe nti eddiba lyange litobye ebirenge;nti anti mu mazzi mw'ekulidde
- Okukomeka ng'omukadde akomeka oluggi
- Okukuba akalali ak'engalabi eseka n'enti mu mubiri"
- Okukuba embukutiro omwavu z'akuba omugagga oba omukadde z'akuba omuyaayu ,nti gulya kabi ki?
- Okuliraana omukulu ataddiza oliraana empagi evaako empumbu.
- Okumyuka amaaso si buzira singa endegeya bazigobesa mafumu na ngabo
- Okwebaka kufa ,y'akomeka oluggi (y'asiba oluggi)
- Okwebambalika ng'omunafu alima ku kkubo
- Okwegaana mulanga endiga ndege,ente kide,embwa kide embuzi mujugo
- Okwegendereza ng'eyafumbirwa ow'amayuuga,bw'alaba ekkonkome ng'agamba nti anaaba ssezaala wange!
- Olaba lulema alukedde ,nga ggwe atandise mu ttuntu onoolukoola otya?
- Oli mugezigezi nga Munnabusiro omubbi nti ndi ku Bbira awo
- Oluganda kulya, olugenda enjala terudda
- Oluluma(eziruma) munno terukulobera kwebaka
- Olusozi lwa bakozi nti nange mbalwa
- Oluvulunguti abasajja lwe baliira mu magi
- Oluyindi teruliibwa nkagga
- Ommaze emmya kabootongo z'amala enkwale
- Omukadde ayigga olutabaalo atenguwa lutenguwe
- Omukadde waawano tayomba, nga akaziinaake weyakalese wekali
- Omukalukalu tajja busera, akugamba bunjokezza we njagala
- Omukazi birenge bya ddiba-bw'otobikunya tebigonda
- Omukazi mmese, nebw'ekulira mu nju ebba
- Omukwano gutta bingi enkukunyi emegga embwa.
- Omumpi w'akoma w'akwata ensolosozi eruma atudde
- Omunaku awooma ttu
- Omunya gugyiira mu nju/ mu munyale
- Omusabi ayita misana ,omubbi kiro
- Omusajja atatya munne tawangaala
- Omusajja awaza ne bw'aba akooye
- Omusajja ayonsa bubogo
- Omusajja mbwa, w'aliira w'aleka ekyaliiro
- Omusambirizi akira omutengu
- Omutamiivu agutamiiza luggi
- Omuto gy'amanyi enkuba gy'etonya
- Omutwe gyegusula, ebigere gyebisookera
- Omuze gw'omanyi,tegutta bufumbo
- Omuzibi w'amaaso alaba kiro,olumuyita nti ndaba
- Omuzira afiira watono amazzi gafiira mu ntamu
- Omuzira kigere kya mbogo Okyegezaamu nga teriiwo
- Omuzira kigere kya mbogo okyegezaamu nga teriiwo
- Omuzira mwana gwa ngo guyimba okuluma n'okutaagula
- Omwagadde kwa mwaka akussa bikongoliro
- Omwaka gw'enswa bagutendera ku mulala
- Omwana aliko nnyina takyazika
- Omwana muwala kkoba lya mbogo lyeggya lyokka mu bunnya
- Omwana omuto akaabira ekitali kikye
- Omwana omuwala asera na nyina
- Omwana omuwanga ,takuba nnimi ng'abireetedde ye,ate bw'aba abiggye ku ye,agamba nti omwana oyo wa lugambo
- Omwana omuwere tasookera ku mmere asookera ku mazzi
- Omwana tabukutira mu nda bbiri
- Omwangu y'atta enswa ng'asanze kibuuka
- Omwavu afikka kya kulya tafikka
- Omwavu ky'afuna kye yeetuuma nti nze Nsimbi,nze Mwenge
- Omwavu tagenda mu kyama
- Omwavu ye mulalu alya bya kuzaayisa
- Omwayi si mumizi
- Omwaza kinyumu tayombera nkolo
- Omwenge ogujjula gwe gusibirwa empina
- Omwenge ogw'ekitundu togumma munno
- On'alya n'oli alya y'emmere egenda
- Onjunjudde ,ssabiiti munafu
- onkyayidde ku nsiko nga muyizzi
- Ositukiddemu ng'eyatega ogw'ekyayi
- Ositunkana ng'obugenyi obuliko embwa
- Ositunkana ng'omugenyi atakkuse nti bagundi kaŋŋende mbalabire ddala
- Osse aga n'aga wambwa ge yatta e Bulugu
- Otabaala ng'alekerera efuluuta n'asoya enju
- Otulo tw'okumakya y'ensibuko y'obwavu
- Ow'akabukuta takwasa mutego
- Ow'akabukuta takwasa ngo
- Ow'amaddu tomuleza ku ntwere
- Ow'ebbango bwot'amuwemukira tewebikka
- ow'emmereye tabula gw'atta
- Ow'endabirirwa ebbugga asaba ssabe
- Ow'enjala tamalaawo nva amalawo mmere
- Ow'enkaaba mbi agoba omwami mu lumbe nti eyakuno ngiguze k'omwami nti nze mmusse
- Ow'ennimi akira omuyiisa
- Ow'enzina mbi azinira mu babe
- Ow'envumula mbi akoma ku kikubansiko.
- Ow'omugongo omutono talya ka Mugolooba
- Ow'omukalo gwe, taseerwa nsava
- Owemukidde Bunyoro ng'atalidda Buganda
- Ekibunza eggwaatiro nkuba kuyinga
- oyogera tolototto ng'owomumwa atakuba
- Oyogeza kiruyi omwenge ssi mmere
- Oyomba olutulumuko nga gwe babbira omuzigo
- Oyota gwa vvu nti nnina abaana
- Ozaala bakulu nga bbumbuzi
- Ozesennyedde za kukwookya kijja-na-nnenge ku kkubo
- Ozimbya entwiri ng'omuwuulu agaba enkejje.
- Ozinuka ng'alimyewo ekimu (ekibibi/ekikata)
- Seddume w'embwa nantaweebwa bagenyi
- Sekawuka kaali kakulumye bw'okalaba okadduka
- Si kutta kulonda
- Sikutte kiti nkutte mbazzi
- Asiibula nga muyala nti weeraba taata
- Sikyaddiŋŋana aggalawo misana
- Ssambyasamyako ng'omubi alinya obuliri
- Ssekkubo limu lyassa Wamusu
- Ssemutego tegulwala mugongo, nga kyebaagutuma tekinnagukwata
- Ssemuto wattira eggege, waddinganya omuya
- Ssemuze gukuwadde balo ,ab'ebweru bayima ku lusozi ne balangirira nt ekigwagwa kya munno,anti weegaana ki?
- Sseruggula bifulukwa: aggudde ekirimu omuntu"
- Sserwajja okwota akiza nyinimu entannama.
- Ssifaayo abeera musiru.
- Ssiyola ŋŋaanga gyessiiryeko magi.
- Ssizzanga musango ayokya luyiira.
- Ssossolye bw'atafa atuuka ku lyengedde
- Tebyasa mutwe nga tebabigambye ggwe.
- Tekirya munaku nga tekimulabye.
- Tekoobedde egudde mu kyayo (ekitimba)
- Tonsibaako matu gambuzi kundiisa ngo
- Totta kibe nga tekinnakenena ndusu
- Tuli ŋŋoma: tuvugire amatume (oba: tuvuga amatume)"
- Tunaagabanira emitala, y'akuseera
- W'otonnatuuka we balya ekyenkya
- Wambwa ayiggira agage n'aga mukama we
- Weeyazeyaaze akubbya mw'osula
- Weeyogeza ng'owamalibu ayasira embwa nti bw'eribulwa amannyo ndigisongolera emmambo
- W'oddizza omulalu mukaama ng'omulamu omulaba?
- Yakuza mutwe nga mmale
- Yeewaana ng'eggunju ery'ettulu nti, “mba n'abiri ne nannyini nkoko mbadde muleeta”!
- Yeyogeza ng'olwanobako nti baleete omwenge bannone
- Zikusooka nezitakuva mabega
- Akaakyama amamera, bw'okagolola kamenyeka bumenyesi
Nkyayongerayo nkumu kino kituuza.........................alina lwatategedde nkubira ku 0706311881 oba 0712417709
oba ku facebook Kajubi James
Nsanga ne ku feesibuuku nyiga mu kafaananyi kange otuuke butereevu
HTML Comment Box is loading comments...